Bya Francis Ndugwa
Bulange Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okwongera amaanyi mu kusaabulula obulimba n’ebigambo ebyeffutwa n’obukyayi ebigendereddwamu okubaggya ku mulamwa naddala buli lwe babeera ku mulamwa gw’ensonga enkulu ezikwata ku Buganda.
Omutanda ekiragiro kino akiwadde aggulawo Olukiiko lwa Buganda, olutuula olwa 29 mu Bulange e Mmengo ku Mmande.
“Tuteekwa ffenna awamu okwongera amaanyi mu kusaabulula obulimba n’ebigambo ebyeffutwa, n’obukyayi ebigendererwa okutuggya ku mulamwa nga twogedde ku nsonga enkulu ezikwata ku Bwakabaka.” Ssaabasajja Kabaka bw’alagidde.
Mu ngeri yeemu Omutanda asabye abantu be okwongera amaanyi mu kulwanyisa obulyi bw’enguzi n’agamba nti bwe buzing’amizza obuweereza obwenjawulo okutuuka mu bantu be. Kabaka era alambise abantu be nti ekigambo ky’obulyi bw’enguzi kisukka ku kubulaankanya ssente; naye n’ensonga endala ng’okusaanyaawo ebibira n’entobazzi awatali kufaayo ku butonde nabwo bubeera bulyake bwennyini.
Beene yennyamidde olw’engeri abantu abamu gye bafunamu emirimu nga tebaweza bisaanyizo, kyokka ababirina ne balekebwawo ky’agamba nti kizizza nnyo enkulaakulana ya Uganda emabega.
Omuteregga era asabye abantu be okutwala olutalo lwa Mukenenya mu maaso wadde nga bangi amaaso babadde bagatadde ku Ssennyiga Corona amaze emyaka egisoba mu ebiri ng’atadde ensi yonna ku bunkenke.
Ono era asiimye abantu bonna abatwala ebiteeso by’Olukiiko nga bikulu era n’abasiima olw’okufuba okusaasaanya obubaka buno eri abantu abalala.
Kinajjukirwa nti luno lwe lubadde Olukiiko olw’omulundi ogwa 29 bukya Omuteregga atikkirwa ku kasozi Naggalabi mu Busiro.