• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Mwewale okutambuliza obufumbo ku mitimbagano – Owek. Kaawaase

Gambuuze by Gambuuze
July 10, 2026
in Amawulire
0 0
0
Mwewale okutambuliza obufumbo ku mitimbagano – Owek. Kaawaase
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Omuweereza mu Bwakabaka Daniel Lukabwe ng’ono ye Mumyuka w Kalondoozi mu Bwakabaka, agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omwagalwa we Bridget Nakabugo mu kkanisa ya St. Phillip and Andrew e Mukono, Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.

Prof. Kaawaase asinzidde wano n’agamba nti obufumbo nsonga nkulu mu ddiini ne buwangwa, kubanga gwe musingi gw’amaka omuva abantu abakola Buganda, ayongeddeko nti ssi kirungi muntu kwefumbiza wabula okutandika olugendo mu lujjudde abantu bonna ne bajulira obufumbo bw’abo abasalawo okubeera bombi.

“Mu nnono zaffe amaka agataliimu mwami na mukyala Buganda eyuuga ne mu ddiini amaka ganywera singa omukyala abeera n’omwami ate nga ssi bufumbo bwa bikukujju oli kuleeta bwe bafaananya ekikula” Owek. Kaawaase.”

“Abantu tubawasa oba tubafumbirwa olw’obulungi bwabwe, olulyo lwabwe, empisa zaabwe, eeddini, ssi kirungi kuwasa muntu atalina ddiini, buli kiseera, obufumbo butagala, ne ssente zaabwe. Kyokka kikulu okumanya nti mu mbeera zonna ssente zirina okukozesebwa mu ngeri ennungi nga buli omu ayamba munne, kyokka Omusajja y’alina okusigaza” Prof Kaawaase.

Owek. Kaawaase ayozaayozezza Daniel ne Bridget okutuuka ku bufumbo obutukuvu wamu n’abazadde okulaba ku kkula ly’abaana baabwe nga bagittibwa era aliko by’akuutidde abagole.

“Daniel mukungu wa Kabaka, nga mutandika obufumbo buno mulina okumanya nti waliwo bye mulina okwefubako; okuwaŋŋana ekitiibwa, okuwuliziganyanga, obwerufu buli omu eri munne, mikwano gyammwe tegirina kusukka mu nsonga zammwe ng’abafumbo, mwejjajjatteko n’obugambo obuwoomu, mwewale ne social media kubanga kuliko abataagaliza bangi, ab’ekiso temutaakayo bufumbo bwammwe wadde abaana bammwe”.

Rev. Eng. Dr. Emmanuel Mwesigwa Chaplain wa Kakumba Chapel ku Kyambogo University y’akulembeddemu okugatta abagole Daniel ne Bridget, mu kubuulira kwe essira alitadde ku bumu ne yebaza abagole olw’okusalawo okubeera awamu.

“Okubeera awamu mukisa, ate okusaasaana kikolimo kivaamu obutabanguko, nneebaza abagole baffe okuba nti basazeewo okubeera awamu. Daniel ono ayagala nnyo Obuganda, ffenna bwe tumanyi obulungi nti buyimiriziddwawo ku bumu, kale mbasaba okukola ebyo ebibakuumira awamu, mwewale ebiyinza okubaawula byonna” Rev. Mwesigwa.

Rev. Mwesigwa akubirizza abantu bulijjo okukolera awamu ng’akikaatiriza nti abo abakolera wamu ebibala bafuna bingi, kyokka oyo asalawo okukola yekka afuna okukaluubirizibwa mu ngeri nnyingi nnyo.Rev. Mwesigwa asabidde obufumbo bwa Daniel ne Bridget omukisa era n’abakulemberamu okukuba ebirayiro by’obufumbo. Abaagaliza obufumbo obulungi n’okwekwata Katonda mu nsonga zaabwe zonna.

Okugatta abagole kujjuliddwa abantu ab’enjawulo abakungaanidde mu kkanisa omuli abazadde b’abagole, abaweereza mu Bwakabaka nga bakulembeddwamu Omuwandiisi Ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege, Omw. Dunstan Busuulwa, Bannaddiini ab’enjawulo abooluganda n’emikwano gy’abagole.

Abagole Daniel ne Bridget oluvannyuma lw’okugattibwa basembeza abagenyi baabwe ku Cardinal Nsubuga Memorial Centre e Mukono.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.