Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti kampuni yonna okuwangaala n’okuwangula, bannayiniyo bateekeddwa okuba abamalirivu wamu n’okuba n’obukugu mukyebakola.
Okwogera bino, Ow’omumbuga abadde ku wooteeri ya Serena mu Kampala nga kkampuniye ne munne Francis Buwule, ey’amateeka eya Mayiga & Buwule Advocates, eweza emyaka 25 ng’eweereza Bannayuganda.
“Lubadde olugendo olubaddemu eby’okuyiga bingi. Tetwalina nsimbi zitandika wabula obumalirivu n’ekirowoozo kyetwalina era twawagirwa abantu bangi,” Mayiga bweyategeezezza.
“Ekyokuyiga kyetufunye mu lugendo luno kiri nti buli kintu kyonna ky’oyagala okukola weetaaga abantu abalowooza nti kirungi nebakuwagira. Twali balenzi bato, okutandika kampuni nga gyetugenda okuyimirirako kyali kyetaaaga obumalirivu.”
Katikkiro yanyongeddeko nti esonga endala eyabasobozesezza okuwangaala ne munne wamu n’abawagizi baabwe, kwekuba nga bafubye okukola emirimu gyabwe nga tewali bukuluppya yadde okukukuta.
“Emirimu gyetukola tulina okuba nga tugirinamu obukugu betukolera babe bamativu ate babuulire n’abalala. Twebaza nnyo abo abatwesize era kati waliwo omujiji omuto ogwa bannamateeka ndowooza baggya kusobola okutwala omulimu guno mumaaso.”