Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, agambye nga eggwanga lyolekera okulonda kwa bonna okwa 2021, abantu basaanidde bakimanye nti baluganda abatateekeddwa kwawulwayawulwa lwa byabufuzi. Mu bubakabwe obwa Ssekukkulu n’omwaka omuggya, Omutanda ategeezezza nti akalulu kaggya nekagenda naye abantu basigalawo.
“Ettemu, enge n’obukyayi ebyeyongera bisaanidde okukoma naddala nga tusemberera okulonda. Abantu bakimanye nti enjawukana mu by’obufuzi tebibafuula balabe kuba basigala baluganda,”Kabaka bwategeezezza mu kiwandiiko ekifulumiziddwa woofiisi ye nga ye kennyini akitaddeko omukono.
Kabaka era asabye abantu okwongera okwekuuma obulwadde bwa siriimu n’ategeeza nti ajja kugenda mu maaso ne kaweefube ow’okumulwanyisa.
“Obulamu kikulu nnyo n’olwekyo abantu baffe basaanidde okwongera okwekuuma siriimu ate n’okwekebeza n’okufuna obujjanjjabi n’okubudaabudibwa,” Kabaka bwagambye.
Obubaka bwa Kabaka mubujjuvu
Twebaza omutonzi olw’okututuusa ku nnaku enkulu nga tumalako omwaka guno ogwa 2019.
Tuyozaayoza abo abafuniddemu ebirungi ate ne tusaasira abantu baffe abafiiriddwa abantu babwe n’abafuniddemu ebizibu ebitali bimu.
Omwaka guno tulambudde Amasaza agawerako era twebaza nnyo abantu bonna abatwanirizza mu ssanyu eringi buli bwetubadde mukulambula kwaffe. Abaami b’amasaza gyetulambudde omwaka guno bakoze kinene ddala. Twebaza nnyo Ssebwana ne banna Busiro olw’okutwaniriza enfunda ezisukka mu gumu. Mwebale nnyo mwebalire ddala.
Omwaka guno twasalawo okutandika okulambula Obutaka bw’Ebika byaffe. Nneebaza Abataka ab’obusolya gyetumaze okulambula olw’enteekateeka ze bakoze ku Butaka bwabwe era nkakasa eyo gyetutannatuuka nti tuggya kubatuukako.
Omwaka guno twogedde ku nsonga nyingi enkulu nga mwemuli, ezo ezikwata ku bulamu, n’obuli bw’enguzi. Njagala nfundikire omwaka nga nzikaatiriza ensonga ze nalambise nga nsisinkanye Abataka mu Lubiri e Mmengo.
Obulamu kikulu nnyo n’olwekyo abantu baffe basaanidde okwongera okwekuuma siriimu ate n’okwekebeza n’okufuna obujjanjjabi n’okubudaabudibwa.Kati emyaka ebiri nga twogera ku nsonga eno era tujja kwongera okugyogerako.
Okukuuma Obutonde bw’ensi nakyo kikulu ddala Nga bwetulabye ennaku zino amataba n’ekyeya bitandise okututeganya olw’embeera ezireetebwa obutakuuma butonde bwansi.
Ettemu, enge n’obukyayi ebyeyongera bisaanidde okukoma naddala nga tusemberera okulonda. Abantu bakimanye nti enjawukana mu by’obufuzi tebibafuula balabe kuba basigala baluganda.
Ettaka ye Nnyaffe n’olwekyo likuumibwe butiribiri, kuba awatali ttaka, abantu bafuuka momboze.
Tubaagalaiza okuyita mu nnaku enkulu mu mirembe n’omwaka omuggya gubeere gwassanyu n’emirembe.