
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssenkulu wa Tropical Bank Abdulaziz Muhamed Mansur nebateesa okutondawo enkolagana wakati wa Bbanka eno n’Obwakabaka, kisobozese abantu ba Beene okugyeyambisa okuganyula emirimu gyabwe.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era Katikkiro Mayiga bano abeebazizza olw’okuvaayo bakolagane n’Obwakabaka.
“Tropical Bank ebadde nsaale nnyo mukuwagira emirimu gy’abasuubuzi nze gyemanyidde ddala obulungi,” Katikkiro Mayiga bwategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti Buganda ye mutima gw’ebyenfuna wano mu ggwanga era abantu bangi mu Buganda basobola okweyambisa bbanka eno okukuza emirimu gyabwe.
Ow’omumbuga akinogaanyiza nti Buganda tesobola kudda kuntiko okuggyako nga abantu basobola okufuna ensimbi eziwagira emirimu gyebakola nebasobola okulaakulana.
Wano wasinzidde naakubiriza abantu ba Beene okwettanira okutereka ku nsimbi zebagya mukulima emmwanyi basobole okwekulaakulanya.

Akulira entambuza y’emirimumu Bbanka eno, Hajati Joweria Mukalazi ategeezezza nti bakuteeka essira ku kuwagira abantu abakola buzineensi, abalimi n’abalunzi, n’abantu abalala abakola emirimu egitali gimu era nga bakwegatta n’obwakabaka okuddiza ku bantu wakati mu nteekateeka z’obwakabaka ezenjawulo ng’emipiira gy’amagombolola n’ebirala bingi.
Mukalazi agasseeko nti bbanka eno yakugunjaawo enkola eya Islamic Banking ku nkomerero y’omwaka guno olwo bannansi basobole okufuna ensimbi mu nkola elungamizibwa enzikiriza ey’obusiraamu naabo basobole okuganyulwamu.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abamu ku bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka ne Katambala Hajji Sulaiman Magala wamu n’ abantu abalala bangi.









