Bya Musasi Waffe
Kibuli
Omulangira Kassim Nakibinge asabye bannayuganda okwenyigira mu by’obufuzi by’eggwanga era basalewo bulungi nga okulonda kutuuse.
“Mwenyigire mu nsonga z’obukulembeze bw’ eggwanga era muwe abeesimbyewo bonna omukisa okubawuliriza n’oluvanyuma mukole okusalawo okutuufu,” Nakibinge bweyategeezezza.
Bino yabyogeredde Kibuli bwabadde asisinkanye Omubaka Robert Kyagulanyi ne ttiimu ye ku Lwokuna.
Ono yasiimye Kyagulanyi ne banna NUP okukunga abavubuka beenyigire mu by’obukulembeze bw’eggwanga.
Nakibinge yabasabye okugenda mu maaso n’enjiri eno kasita ebeera nga ya mirembe nga tebamenya mateeka wadde okukola efujjo.
Omulangira yalabudde poliisi okukomya ebikolwa eby’efujjo nga egaana abakulembeze okwogerera ku leediyo ezimu ekintu ekitali kituufu.
Ku kirwadde ki COVID19, Omulangira yasabye abantu okwekuuma ekirwadde kino kubanga gyekiri.
Yabasabye okwewala okuwuudisibwa bannabyabufuzi abamu abatagoberera mateeka gateekebwawo okulaba nga kitangira.
Omubaka Robert Kyagulanyi, yasiimye omulangira Nakibinge olw’okubazzaamu amaanyi era nategeeza nti bagenze kweyanjula nga NUP era bamulage ebigendererwa byabwe nga ekibiina.
E Kibuli Kyagulanyi yawerekeddwako bannakibiina ki NUP okwabadde, Omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina mu Buganda Mathias Mpuuga, Latif Ssebagala, Omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi ne Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubangoya.