• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Muyimirire n’Obwakabaka ku bbago ly’Obwetengereze – Ssabawolereza Bwanika

Gambuuze by Gambuuze
May 5, 2026
in Amawulire
0 0
0
Muyimirire n’Obwakabaka ku bbago ly’Obwetengereze – Ssabawolereza Bwanika
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Bannabuluuli basabiddwa okuyimirira n’Obwakabaka ku tteeka ly’obwetengereze nga okusaba kukoledwa eri eggombolola zonna ezikola essaza Buluuli ezikiise embuga mu nkola ya luwalo lwange era ne ziwagira Obwakabaka n’obukadde munaana n’emitwalo kinaana mw’essatu mu kenda nga lubatikiddwa Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika.

Ssaabawolereza Christopher Bwanika asabye abantu ba Kabaka okuyimirira nabo ku nsonga Obwakabaka ze bwataddeko essira mu tteeka eriri mu kukubaganyizibwako ebirowoozo ery’obwetengereze bwe ggwanga nga ono anyonyodde nti Obwakabaka tebuwakanya kuteesa kwa gavumenti wabula kisaanidde bakyusemu ebyo ebirumira ebiri mu teeka eryo.Ono akubirizza bannnabuluuli obutatunda ttaka lyabwe naye bakolereko ebyo ebyongera okuvaamu ensimbi ate balwanirie n’eryo eryatwalibwa

“Ettaka bwe buzalirwana bwaffe era ettaka eriri e Buluuli mwe abaami mwe basaale mu kulikuuma nga bwe buggaga bwaffe era mulina okulirwanirira nga ekitongole kye nkulira kirwana okulaba nti tukwatagana ne gavumenti okugibanja ebyaffe era enkiiko nnyingi ze tutuuza kale temuggwamu maanyi ku nsonga za ttaka” Oweek Bwanika bwanyonyodde.

Ku nsonga z’embuga ezawambibwa, Oweek Bwanika asabye Abaami ba Kabaka okuwaayo alipoota empandiike ku bifo ebyo mu woofiisi ya Ssabawolereza esobole okutwala abasatuusi abo mu mbuga z’amateeka, Ssaabasajja asobole okuddizibwa ettaka lye.

Nga abaana bali mu luwummula Ssaabawolereza Bwanika asabye abazadde okwagazisa abaana baabwe Kabaka waabwe wamu n’okubayigiriza olulimi oluganda kuba ku masomero gye bawangalira batendekebwa ebintu ebirala ebitali bya nnono na buzaaliro bwabwe.

Ssaabawolereza w’Obwakabaka Christopher Bwanika asabye abantu b’e Buluuli okutegeera omulamwa Obwakabaka kwe butambulira kakano ogwa Situla omutindo, bannyikize okussa mu nkola emiramwa omukaaga egiri mu Situla omutindo.

Omwami wa Kabaka mu sazza Buluuli Kimbugwe Robert Ssonko Kabogozza alaze nti bakoze emirimu mingi okuyita mu nnambika ya gavumenti z’ebintu mu Bwakabaka kyokka alaze nti beetegefu okusigala nga bakola wadde nga balina ebibasoomoza nga ebimu ku byanokoddwayo by’ebifo we banditudde okukuba enkiiko okuba nti byabagibwako mu mu bumenyi bw’amateeka.

Kimbugwe asiimye Obwakabaka obutabattaliza mu mpeereza yonna eweebwa amasaza amalala kyokka naye alaze nti ne ssaza lyakulembera terijja kusosola mu bantu bafuna ku mpereza ezo olw’amawanga ag’enjawulo agafumbekedde mu ssaza eryo.

Nnyombi Geofrey Ssenyonga atwala eggombolola ya Musaale Wabinyonyi alaze nti bakyalina okusomooza kwa poliisi ye ggwanga okuwamba embuga ye ggombolola kale nga tebalina kifo kya nkalakkalira webakolera mirimu gya Ssaabassajja. Kyokka ono alaze nti basobola okufuna ekifo we bakakkalabiza aw’ekiseera.

Nazziwa Deborah akulembera eggombolola ya Mituba 4 Nakasongola anyonnyodde nti wadde bakolera mu mbeera eteyagaza olw’ebyo ebitambulira mu ssaza Buluuli basobodde okwetaba mu mirimu gye mbuga gyonna okuli emisinde gy’amazaalibwa, okulima emmwanyi, okusomesa abaana mu nnasaale za Ssaabasajja n’ebirala.

Ggombolola ezikiise kwekubadde Mumyuka Kagooge, Ssaabaddu Nabiswera, Musaale Wabinyonyi, Mituba 4 Nakasongola, Mutuba 1 Nakitoma, ne Ssaabawaali Kalungi.Essaza lya New England mu America nalyo likiise embuga n’obukadde 10 nga bamalayo obweyamu bw’omwaka gw’oluwalo 2025.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.