Bya Francis Ndugwa ne Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti okuyimbula abantu ab’enjawulo abali mu makomera mu kiseera kino era ekomye n’ebikolwa eby’okutulugunya abantu kuba omuntu asigaza eddembe lye ne bw’aba aliko ensobi gy’akoze.
Owek. Mayiga bino abyogeredde mu bimuli bya Bulange olwaleero ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye abakulembeze abalonde okuva mu disitulikiti y’e Butambala.
“Twetaaga enfuga etambulira mu mateeka nga buli omu alamulwa kyenkanyi ng’amateeka gakola. Abantu bayitirivu abali mu makomera siraba gavumenti kye gifunamu. Babatwale mu ma kkooti babagambe nti wakola musango guno naye okubayimbula kyandireese okutebenkeza emitima gy’abantu.” Owek. Mayiga bw’annyonnyodde.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti emisango ng‘abantu 40 okuvunaanibwa okubeera n’amasasi 4’ tebirina we bigenda kutwala ggwanga okuggyako okwongera obunkenke mu bantu.
Okusinziira ku Owek. Mayiga, gavumenti erina okulowooza ku by’okutabagana n’abagivuganya mu ggwanga lyonna, akalulu kaleme kubeera nga lutalo.
Mayiga ayagala gavumenti eteeke ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu wakati nga Pulezidenti Yoweri Museveni agenda okulayira ku kisanja kye eky’omukaaga, eggwanga lisobole okutebenkera n’okugenda mu maaso kuba akalulu kawedde.
Eri abakulembeze abalonde Katikkiro Mayiga abasabye okwewala okulya enguzi n’okugibikkirira, kisobozese emirimu okutambula obulungi era gituukirire. Katikkiro Mayiga abasabye okwekuumira eri Embuga enkulu basobole okumanya eby’ensonga kuba wano waka waabwe mwe balina okwegazaanyiza era n’abasaba okumanya nti wadde bavubuka be basinze okuyitamu, naye balina okukimanya nti ebiseera eby’omumaaso ebyogerwako bitandika leero era basoosowaze ensonga za Buganda.
Ono asiimye Katambala n’olukiiko lwe olw’okuddaabiriza ennyumba Ssemayembe kuba kino kiyambye okubbulula ekitiibwa ky’essaza lino awamu n’okununula ettaka awamu n’okukulaakulanya abantu ba Kabaka nga babakubiriza okwegatta.
Ku lwa banne, ssentebe wa disitulikiti y’e Butambala, Rashidah Namboowa, yeeyamye eri Katikkiro nga bwe batagenda kulya lukwe mu bantu ba Kabaka era bajja kunywerera ku kigendererwa ekinene kye balina eky’okununula eggwanga.
Ate ye omubaka omukyala omulonde owa Butambala, Hajjati Aisha Kabanda, ategeezezza nti bajja kuweereza Buganda ne Uganda n’amagezi gaabwe awatali kugitiirira okutuusa lwe baliva mu bulamu bw’ensi era amaanyi bagatadde ku by’obulamu, ebyenjigiriza wamu n’okulwanyisa obwavu.
Abakulembeze bano baguze Satifikeeti za bukadde okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.