
Bya Ronald Mukasa
Kyaddondo – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubirizza abazadde okuteekateeka abaana baabwe nga babayigiriza okukola emirimu, empisa, era babatwale mu masomero okufuna obukugu obunabayamba okweyimirizaawo mu maaso.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuwadde asisinkanye musaayimuto musaayi Mutto Mayiga Jawaduh mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Omwana ayinza obutaagala kukola mirimu gyawaka kyokka bw’omuyigiriza okugikola kimuyamba bwakula,” Katikkiro bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti abalina endowooza y’obulamu obulungi okubeera mu kwambala amasuuti n’amataayi balina okugikyusa kubanga abalimi b’emmwaanyi bawangaalira mu bulamu obulungi okubasinga.
Owek. Mayiga amusabye okunyweza ekalamu, okubeera Omunyikivu mukulima emmwaanyi, okubeera n’empisa nga awulira bakadde be nokubawa ekitiibwa olwo bwanafuuka ow’omugaso mu ggwanga.
Mukuumaddamula yeebazizza abazadde b’omwana ono olw’okumukuza obulungi nokumuyigiriza okulima emmwanyi kyagamba nti kyakumuyamba nnyo mubulamu bwe.
Musaayi Mutto Mayiga Jawaduh yeebazizza nnyo Kamalabyonna olw’okumukyaza bwatyo nasaba Katikkiro naye awebwe omukisa akwate omumuli mukubunyisa kawefube w’ Emmwaanyi Terimba naddala mu baana.
Omwana ono era yeebazizza Nnyina olw’okumukiriza okwetaba mu musomo gw’emmwaanyi gwagamba nti gyeyafunira obukugu mukulima emmwaanyi.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita w’ Amawulire n’Okukunga Abantu mu Bwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Minisita w’Abavubuka n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga n’abantu abalala bangi.









