Kiyingi yaliko omubaka wa palamenti owe Mawokota, era Mutabani wa Kiyingi Bbosa.
Omusumba omuggya ow’essaza lye Masaka, Serverus Jjumba yaakoze omukolo ogw’okubagatta. Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abagole okunywerera ku bintu ebibatwala mu maaso kibayambe okunyweza obufumbo bwabwe. Omukolo gwetabiddwako Namasole Margaret Siwoza, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwannyammuli Ssemwogerere, n’abakungu abalala bangi.