Musasi waffe
Katikkiro agguddewo Ettabi eppya erya Sekanyolya systems. Lisangibwa ku kizimbe kya “Kingdom Kampala” okumpi ne Uganda Broadcasting Corporation (UBC). Bano batunda byuma ebikozesebwa mu kukuuma, omuli; camera, ne ssengenge.
Ssenkulu wa kampuni eno, Elijah Zizinga yagambye nti ettabi lino litandikiddwawo okwanguyiza abantu abava mu bitundu ebiriranye Kampala okufuna obuweereza obwamangu. Katikkiro yasabye bannayuganda okuwagira ebintu ebikoleddwa mu Uganda okusobola okukulaakulanya eggwanga. Yagasseeko nti n’amakampuni gano gateekeddwa okukola obulungi okusikiriza abantu babawagire.
“Kikulu nnyo amakampuni agaagala okuwangaala okusukka ku myaka etaano okutegeera bakasitoma baago era n’ebakola nga bwebaagala. Okusomoozebwa okusinga obukulu gw’emutindo gw’obuweereza bwaffe,” Mayiga bweyagambye.
Yasiimye nnyo Ssekanyolya n’omutandisi waayo Zzinga olw’obuweerezabwabwe obulungi. N’agamba abantu abaagala okuwangula balina okwagala byebakola.