Bya Musasi Waffe
Oluvanyuma lwa Ttiimu ya Police F.C okuwonera ku kaguwa okusalwako mu Uganda Premier League mu sizoni ya 2019/2020, kati ekola buli kimu okulaba nga yenywezza.
Ttiimu eno efunye omusambi omuggya Muwada Mawejje agiyambeko okunyweza amakati gaayo.
Mawejje yayanjuddwa ku Lwokutaano era naweebwa endagaano ya myaka 2 okusambira Police F.C.
Ono Police F.C agyegattideko ku bwerere era nga kinajjukirwa nti ekitundu kya sizoni ewedde akisambidde mu Bright Stars FC gyeyasindikibwa aba Wakiso Giants ku bbanja.
Mawejje okugenda mu Wakiso Giants yava mu KCCA, Muwada yasambirako ne ttiimu ya SC Villa wamu ne Victoria University etakyaliwo.