Musasi waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abavubuka okukola ennyo bave mu kusiiba mu masinzizo mbu basaba bugagga. Okwogera bino Mayiga abadde ku Keleziya ya Our Lady of Mount Carmel e Kansanga nga Derrick Muganga, mutabani wa Leonard Mukasa agattibwa ne Janet Atuheire. “Mulina okukola ennyo, temusulanga mu keleziya nga musaba obugagga. Abavubuka baagala kwonooneka nti basiiba basaba Katonda abagaggawaze. Ekyo kyabulabe, mubanga abakema Katonda. Mu musabe abawe ebirowoozo ebireeta enkulaakulana abawe n’obulamu obulungi,” Mayiga bwagambye. Asabye abafumbo okukola ebyo ebireeta essanyu mu maka nti olwo lwebajja okusobola okweyagalira mu bufumbo.
Annyonnyodde nti obufumbo bulinga ebintu ebirala byonna munsi, nga bwobiwa obudde osobola okubiwangula. “Omusuubuzi bwasuubula engoye, enkya nazivaako n’asuubula kasooli, ate enkya n’asubuula ebyamasannyalaze, ekivaamu nga agamba nti bandoga, nga n’obusuubuzi bumulema kubanga talina kyawadde budde,” Mayiga bwagambye.
Asabye n’abafumbo okuba abayonjo kubanga teri muntu ayagala muntu mukyafu. “Ekisikiriza abantu okudda eka sirwakubanga ennyumba nenne nnyo oba erimu ebibajje ebirungi ennyo. Temujja kwagala kubeera mu maka ago singa gabeera majama ate bwemutaayagale kugabeeramu mwembi, ng’obufumbo bugenze,” Katikkiro bwagambye. Yeebazizza nnyo abavubuka abettanira obufumbo n’agamba nti teri muntu ayinza ku kulaakulana singa takola ebyo ebisoomooza.