Bya Francis Ndugwa ne Gerald Mulindwa
Wakiso
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, awadde gavumenti amagezi ekole ku bizibu ebiruma abantu mukifo ky’okwekwasa amawanga bweba yakusigaza buganzi mu bitundu nga Buganda.

Bino Kamalabyonna abyogedde alonda abakulembeze ku mutendera gwa disitulikiti era n’akunga abantu okwetaba mu kulonda kuno n’okweggombolola kuba kukola nnyo mu kutuusa eddoboozi ly’abantu.
“Abantu battiddwa nnyo wano mu Buganda, waliwo abattibwa mu mwezi gwe 11, waliwo abantu ababadde battibwa abakazi bawambibwa, waliwo ekibbattaka, twagala federo emyaka 30 tugibanja era nga ndowooza ze zimu ku nsonga ezavuddeko abantu obutalonda NRM mu Buganda, ” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga era anokoddeyo ensonga ez’enjawulo okuli; obwavu, obuli bw’enguzi, eby’obulamu, eby’enjigiriza, ebbula ly’emirimu nga bino byonna abalonzi tebibasanyusa.
Kamalabyonna agamba nti wadde gavumenti erina enteekateeka ez’enjawulo okuyambako okulaakulanya abantu naye tezituuka ku bantu olw’obuli bw’enguzi era nga kino kirina okutunulwamu mu bwangu.
Ono awadde gavumenti amagezi etunule mu nsonga zino kuba n’ebitundu nga Busoga ne Busia waliwo gyebataalonze Museveni wadde ate nga mu Ankole bamulonze.
“Ndaba abantu si bangi nnyo nga bwekyali ku kulonda kwa pulezidenti n’ababaka ba palamenti naye okulonda kuno nakwo kukulu kubanga obukulembeze butambulira mu mitendera,” Owek. Mayiga bw’agambye.
Okusaba kuno Owek. Mayiga akukoze nkya ya leero e Lweza mu Wakiso bw’akedde okulonda abakulembeze ku disitulikiti.
Mukuumaddamula Mayiga agambye nti obukulembeze bwetaagamu amaloboozi g’abantu okuviira ddala wansi olwo nebasobola okutereeza ebyo ebitagenda bulungi.
Kamalabyonna era yakubirizza abantu okulonda abakulembeze ne ku ggombolola basobole okukola ku bizibu byabwe.