Bya Noah Kintu
Kampala
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka akulembera essaza lya Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda, ategeezezza nti ekizibu ky’ekibbattaka kye kimu ku bizibu ebisinze okuzing’amya enkulaakulana y’abantu mu ssaza lino.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/11/IMG_8317-1024x683.jpg)
Muteesa yategeezezza nti bafunvubidde ng’essaza okulaba nga banunula ettaka lya Mijwala ne Ssaabawaali era balambule n’ettaka lyonna mu ssaza lino okulitaasa n’okununula eryo eryatwalibwa.
Okwogera bino, Muteesa abadde ayogerako n’Omukutu gwa Gambuuze Online oluvannyuma lw’okutuuza olukiiko lw’essaza ku mbuga era n’ayanjula ebimu ku bintu essaza lye bitegese okuwaayo mu Luwalo mwe bagendera okukiika Embuga.
Ono yasabye abantu b’Omutanda okukola obutaweera era n’abasaba okujjumbira enteekateeka za Buganda nga Emmwanyi Terimba, batumbule ebyenfuna byabwe.
Muteesa yeeyamye okugenda mu maaso n’okuddaabiriza ebizimbe bya Ssaabasajja Kabaka byonna ebiri ku ssaza lino wamu n’okwongera amaanyi mu pulojekiti y’olusuku.
Ono yalaze ng’ekitundu kino bwe kirina okusoomoozebwa kw’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era nga kino kitabudde enteekateeka zaabwe ez’emipiira gy’Amasaza, kubanga balina okutuukiriza obukwakkulizo bwonna obwateekebwawo.
Ono era yasinzidde wano n’avumirira ebikolwa by’okutulugunya abantu ebitandise okulabika wakati nga bannansi beetegekera akalulu ka 2021, n’agamba nti tebyetaagisa kubanga ffenna tuli bannayuganda.
Omukiise wa Mawogola mu lukiiko lwa Buganda, Peter Kutawanya, naye yakkaanyizza ne Muteesa, n’asaba abantu okuwang’ana ekitiibwa mu mbeera zonna era bakomye okulwanagana kubanga akalulu ka kiseera buseera.
Kutawanya yennyamidde ku mutindo gw’amasomero ga gavumenti mu kitundu, n’ategeeza nti tegulina kye gugenda kugasa baana ba ggwanga kubanga guli wansi nnyo.
Omukiise Kuwatanya yagambye nti ng’abakulembeze mu Mawogola, bakoze kyonna okwagazisa abantu pulojekiti z’Obwakabaka, basobole okukulaakulana.