Bya Kintu Noah
Ssembabule
Omwami w’essaza Mawogola, Muteesa Sserwadda Muhammad, agamba nti waliwo abantu abeesomye okumalawo ettaka lya Ssaabasajja mu kitundu kino nga buli lukya wabaawo alikaayanira.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/10/IMG_7121-1024x683.jpg)
Muteesa Sserwadda ategeezezza nti bwewaliwo olukwe lwe baguddemu ng’omwami eyategeerekeseeko erya Ssettuba afunvubidde okutwala ettaka eriri mu Mutuba gwa Ssabaddu –Mabindo e Mijwala mu Ssembabule.
Ettaka lino liwerako yiika 632 era nga liri ku Poloti nnamba 1 ku bbulooko 94 nga liri ku ggombolola okuli Kitanda -Mituba 21 ne Mabindo- Mijwala.
Liri ku ggombola ye Kitanda Mituba 21 ne Mabindo -Mijwala.
Ettaka lino liri mu magombolola okuli Kitanda Mituba 21 kw’ossa ne Mabindo – Mijwala era limalayo ebyalo okuli Kayanja e Bukomansimbi, Kikoma kw’ossa ne Lwensu.
Okusinziira ku Muteesa Ssettuba agamba nti lirye era nga yataddeko n’abantu okugira nga balirimirako.
Ettaka eryogerwako liri ku byalo bisatu okuli; Kayanja e Bukomansimbi, Kikoma awamu ne Lwensu mu Ssembabule.Kino kye kyawaliriza Omwami w’omuluka Mabindo, Simon Ssebowa, okukulemberamu Muteesa Sserwadda okulambula ettaka lino wamu n’okulamba empenda zaalyo.
Muteesa asabye abatuuze okuyambako nga baloopa abantu abasalimbira ku ttaka lino.
Agambye nti agenda kukwatagana n’ekitongole kya Buganda Land Board okupunta ettaka lino Ssettuba abalage ettaka lye we liri balyawule ku lya Ssaabasajja Kabaka.
Kinajjukirwa nti, waliwo omusango oguli mu kkooti e Masaka olwa disitikuliti okuzimba kantiini ku ttaka ly’Obwakabaka awatali lukkusa lw’ekitongole kya Buganda Land Board ekirabirira ettaka lya Kabaka.
Obwakabaka mu ngeri y’emu bwatwala eyali ssentebe wa Disitulikiti y’e Ssembabule, Elly Muhumuza ne Bulola Benon mu kkooti olw’okwesenza ku ttaka lya Ssabawaali Mijwala.
Abatuuze basabye Muteesa okukola kyonna ataase ettaka lya Kabaka kubanga liggwaawo. Bano Muteesa abagumizza nti agenda kugoberera ensonga eno era agigguse.