Bya Stephen Kulubasi
Lubaga – Kyaddondo
Akasozi Lubaga kawuumye olw’abantu eb’enjawulo okuva ebule n’ebweya abakungaanidde ku Lutikko ye Lubaga okwetaba mu mmisa y’okugatta abagole Charles Bbaale Mayiga ng’ono mutabani wa Katikkiro Charles Peter Mayiga ne mukyala we Margret Mayiga wamu ne mwana munne Sonia Elizabeth Nabagereka ng’ono muwala wa Peter Kasirye Kamanje ne Mrs Lilian Naigaga Mutengu.

Mu beetabye mu ku mukolo guno kuliko Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnaabagereka Slyivia Naginda, Omulangira David Kintu Wassajja, Nnaalinnya Dorothy Nassolo, Abalangira n’Abambejja, Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, Sipiika wa Palamenti, Annet Anita Among, baminisita b’Obwakabaka, Abataka abakulu ab’Obusolya, Abaami b’amasaza, bannaaddini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo,baminisita okuva mu gavumenti eya wakati, bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo, ab’oluganda n’emikwano gy’abagole okuva ku njuyi zombi n’abantu abalala bangi.

Omukolo gw’okugatta abagole gutandise n’ekitambiro kya mmisa ekikulembeddwamu Omwepisikoopi w’Essaza lye Masaka, Serverus Jumba nga ayambibwako bannaaddini abalala. Ono akubirizza abagole okwagala ennyo nga Katonda bwayagala kibayambe okukuuma obufumbo bwabwe. Omusumba Jumba era akalaatidde abagole okutambuliza obufumbo bwabwe ku Katonda busobole okuwangaala nga bwebaagaala.
Oluvannyuma lwa mmisa, abagole Charles Bbaale Mayiga ne Sonia Elizabeth Nabagereka bakubye ebirayiro ebibayingiza mu bufumbo obutukuvu wakati mu nduulu n’emizira okuva mu babaddewo ng’abajulizi era nebalangirirwa nga abafumbo abajjudde. Oluvannyuma boolekedde ku Serena Hotel mu Kampala okusembeza abagenyi babwe ku kijjulo.

Kulwa bazadde banne, Katikkiro Charles Peter Mayiga akulisizza abaana babwe okutuuka ku kkula ely’obufumbo obutukuvu era naasaba Katonda okubuwa omukisa. Ate Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo akuutidde abagole bano okukuuma ebiragaano byebakubye kibayambe okuwangaaza obufumbo bwabwe n’obutaswaza maka mwebasibuka.
Sipiika wa Palamenti, Annet Anita Among awadde abagole ekirabo kya ente 10 ng’entandikwa. kulunda. Bw’abadde ayogerako eri abeetabye ku mukolo guno, Sipiika yakubirizza abantu okwewala obufumbo obw’omukwano ogw’ekivve era n’abasaba balabire ku bagole bano. Ono era akuutidde abagole okwagalana n’obutakulembeza bitiibwa nga bali ewaka









