Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero ku ssaawa bbiri wakuddamu okwogerako eri eggwanga okutangaaza ku bubakabwe bweyawadde eggulo.
Ebimu ku biragiro Museveni byeyayisizza eggulo kukulwanyisa ekirwadde kya senyiga wa COVID-19, byalese abantu nga beebuuza kiki kyeyabadde atageeza.
Okugeza yalangiridde okukomya okutambula okuva ku saawa emu eya kawungeezi wabula teyalaze kafyu ono agwako ssaawa mmeka.
Museveni era yagambye nti buli muntu ayagala okutambuza emmotokaye alina okusaba olukusa eri RDC wabula abantu bangi baakubye amasimu gaabwe nga tegayitamu.
Museveni era yalagidde nit amaduuka g’ebizimbisibwa gaggalwe, kyokka n’agamba abazimba bagende mu maaso.
Omwogezi wa Pulezidenti Linda Nabusayi, yagambye nti Omukulu agenda kutangaaza ku bimu ku biragirobye.