Bya Ssemakula John
Najjanankumbi – Kyaddondo
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kiwakanyizza ekya Pulezidenti Museveni okwagala okuggyawo ettaka lya mayiro ng’ayita mu Minisita omubeezi ow’ebyettaka,Sam Mayanja.
“Nga FDC tulowooza nti olulumba luno Museveni lw’akola ku ttaka ng’akozesa Ssaabaminisita Nabbanja ne Minisita we Sam Mayanja, bituzzaayo mu by’e Kayunga ne Bugerere mu 2009, ebyafiiramu abantu abaasukka mu 60. Era tetujja kubitwala nga byakusaaga.” Omubaka Ssemujju Nganda bw’ategeezezza.
Bino byogeddwa omwogezi wa FDC era omubaka wa Munisipaali y’e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe batuuzizza ku kitebe ky’ekibiina kyabwe e Najjanankumbi mu Kampala leero ku Mmande.
Ssemujju Nganda annyonnyodde nti bw’aba nga Pulezidenti Museveni ayagala nnyo okulwanirira abasenze lwaki yasengula ebyalo ebisoba mu 8 n’agaziya ffaamu y’e Kisozi.
“Ekizibu tekiri ku mayiro kwokka kuba muwulidde enkaayana z’ettaka e Amuru n’ewalala. Ekizibu be banene abalinyaga ate nga bakuumibwa ebitongole bya gavumenti eby’ebyokwerinda.”Ssemujju bw’agambye.
Ku nsonga eno, aba FDC bataddewo akakiiko akakulirwa Ambasadda Wasswa Biriggwa okukung’aanya ebirowoozo okumala omwaka mulamba ku nsonga y’ettaka lya mayiro era basalewo okulaba oba bagenda mu kkooti.
Ssemujju agamba nti baateekawo ekittavu kya ‘Land Fund’ okusobola okuliyirira bannannyini ttaka eririko abantu n’okulaba nti ettaka libeera mu mikono gya muntu omu naye beewuunyizza okulaba nga Minisita Mayanja agamba nti baakutandika okugaba ekyapa ekisukka mu kimu ku ttaka ate nga kye kimu ku bisinze okuvaako emivuyo wano.
Ono agamba nti ettaka lingi nnyo eritwaliddwa ku biragiro bya Pulezidenti Museveni okuli ery’essomero lya Shimon, bbalakisi y’e Nsambya, Nakawa ne Naguru n’eddala, nga tasobola kubeera muntu omu ate ayagala kutereeza ettaka.
Ssemujju Nganda era asinzidde wano n’ategeeza nti wadde bawagira omuggalo okukendeeza ku nsaasaana ya Ssennyiga Corona naye ate tegulina kubeera gwa lubeerera.
Ono asabye Pulezidenti Museveni aggulewo eggwanga abantu badde ku mirimu kuba n’obuyambi gavumenti bwe yabasuubiza bwalemwa okubatuuka.