Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka w’ekibuga kya Mukono era akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu Mukono, Betty Nambooze Bakireke, atabukidde Pulezidenti Museveni olw’okwera ku ttaka lya Mayiro n’amusaba okugenda empola ensonga eno.
Bino Omubaka Nambooze abyogeredde Kayunga mu kuziika abadde Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Owek. Ffeffekka Sserubogo ku Lwokuna ng’ayogera ku nsonga y’ekibbattaka ekisusse mu Mukono.
“Ekigambo kye bayita Mailo land ky’abaganda eky’oluzungu bakiyita Freehold, Bugerere mu musazeemu ebyapa ebinene ebya Freehold ezo ze Mayiro zaffe akenda (9000), mbadde nsaba mwami Museveni talagiriza bali wala tandikira awo obuuze mayiro akenda kaliwa, 1500 ez’ebibira ensenyi n’emigga ziriwa?” Nambooze bw’abuuzizza.
Ono yeewuunyizza lwaki omuntu omu mu kiseera kino asobola okubeera n’ettaka eriwerako ssikweya Mayiro mu kitundu ky’e Kayunga kyokka nga tebasobola kulaga bajjajja baabwe okulaga nti oba yalisikira.
Nambooze agamba nti ettaka eryalekebwa mu mikono gya gavumenti ya Kwini ate abaddawo baalibba dda era nga lyonna baalitemamu ebyapa era ne balyegabira ate eddala balitutte n’emmundu.
“Eno ensi tetwajja wano nti tuli bakyereeta, eno ensi ya bajjajjaffe ffenna mu mawanga gaffe ag’enjawulo ate bwe tubeera wano e Buganda Omutanda yasiima tekuli muganda nnyo kasita omuntu ajja n’ayisa eby’ensonga oyo abeera muganda.” Omubaka Nambooze bw’ategeezezza.
Nambooze akolokose ababbi b’ettaka mu kitundu ky’e Kayunga era n’asaba abo abasongebwamu olunwe okuli Kalangwa ne banne okweggyako ekigambo kino.
“Eno nsi ya Ssaabasajja Kabaka, lino ettaka lya Ssaabasajja Kabaka. Ye mukama waffe ne bwe bagamba nti simbayo omusiri gwa muwogo ogwa Beene ate ggwe omusima n’omulya. Eno ensi Buganda bajjajjaffe baagigula nannyago, eriko ssikweya mayiro z’ettaka omutwalo gumu mu kakaaga.” Nambooze bw’ategeezezza.
Nambooze ategeezezza nti bino ebiro bye tulimu bya katyabaga era omulembe oguliwo gulinga omukolimire kuba buli ekiriwo kati kinyiza era kikaabya era eggwanga lyetaagako amaanyi ga Katonda.
Ono asabye abantu b’ekitundu kino okusigala nga bagumu era bamalirire okulwanirira ettaka lyabwe kuba lya bujjajja.