![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/02/Rwanda-M-1024x683.jpeg)
Musais waffe
Abakulembeze ba mawanga Rwanda ne Uganda bakkiriziganyizza kukirina okukolwa ensalawo egatta amawanga g’ombi eya Katuna okuggulwa.
Yoweri Museveni owa Uganda ne Paul Kagame owa Rwanda olwaleero basisinkanye ku nsalo e Katuna okongera okuteesa kukuzzaawo enkolagana wakati wamawanga gombiriri eyasasika omwaka oguwedde.
Rwanda erumiriza Uganda okukwata bannansi baayo nebaggalira mu makomera awatali musango.
Era Uganda erumirizibwa okubudamya abayeekera abagazaako okusekeeterera gavumenti ya Kagame.
Mu nsisinkano ya leero amawanga gombu gakkiriziganyizza nti Uganda yakutunula mu nsonga eno okulaba oba waliyo Abanyalwanda abasinziira wano okugezaako okumamulako gavumenti ya Kagame.
Kino bwenaakikolwa, wajjakubaawo alipoota era singa kizuulwa nti abantu bano weebali, balina okukwatibwako ng’amateeka bwegalagira.
Oluvanyuma abakulu bombi baakuddamu okusisinkana e Katuna okuggulawo ensalo.
Kagame ne Museveni basanyufu nti ebyakanyizibwako mu kibuga Luanda ekya Angola bitandise okussibwa mu nkola ng’okuta abasibe.
Wiiki eno Uganda yayimbudde Abanyalwanda 13 nebeegatta ku mwenda gweyali yayimbula edda era bano nebaddizibwayo ewaabwe.
Ne Rwanda era yayimbudde Bannayuganda 15.