Musasi waffe
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/05/Kadaga-and.jpg)
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awaandiikidde Sipiika wa Palamenti Omukyala Rebecca Kadaga ng’amunenya olw’okukyusakyusa mu nteekateeka n’embalirira ya gavumenti naawa ababaka ba palamenti obukadde 20 bulyomu.
Mu bbaluwaye gyeyawandiika nga April 28 eri Kadaga, Museveni agamba kyali kikyamu okujja ssente gavumenti zeyali eteeseteese okukozesa ebintu ebirala naddala okulwanyisa ekirwadde kya coronavirus nebazeegabira.
Museveni yeewunyizza oba ng’ekintu kino tekimenya mateeka naddala nga embalirira ya ssente zino mwezaggyibwa liba bbago lya tteeka ng’era pulezidenti amala kulissaako mukono okutandika okukola.
“Bwewajja okundaba ng’oli ne Ssaabaminisita [Dr Livingstone Ruhakana Rugunda] mwatugamba nti essente mwali mumaze okuziteeka ku akawunta z’ababaka. Kino kyajja kitya? Ani yakikkiriza nga pulezidenti tannaba kussaako mukono?” Museveni bweyeebuuzizza.
Yalabudde Kadaga nti kino kyagezaako okukola kwekuyingirira emirimu gya Ppulezidenti ekintu ekimenya amateeka.
Museveni era yalagidde Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti mu mwezi gumu gwokka atunula mu babaka abaakozesa essente zino kulwabwe kubanga kyali tekikkirizibwa.
Yagambye nti Omubaka agamba nti yagulamu emmere gyeyawa abalonzi aba mukyamu kubanga talina buyinza bugulira gavumenti bintu.
“Abagulira eggwanga ebintu tubamanyi ng’ate ababaka sibeebamu kubbo,” Museveni bwegambye.
Eggulo Palamenti yayisizza ekiteeso ekisiima Museveni olw’engeri gyakuttemu olutalo lw’okulwanyisa ekirwadde kya Coronavirus.