Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), ategeezezza bannamawulire nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni k’akole atya alina okulabikira ku kalulu era ajja kwesimbawo mu kulonda kwa bonna mu kalulu ka 2021.
Bobi Wine yalumirizza Museveni okubeera emabega w’emisango egy’enjawulo egimuwaabiddwa mu kkooti nga kuno kuliko ogw’empapula z’obuyigirize bwe, okufuna ekibiina kya National Unity Platform mu bukyamu wamu n’ebya Moses Kibalama okwekyusa n’ategeeza nga bw’abanja Bobi Wine obukadde bwa ddoola 5 nti bino tebigenda kumuggya ku mulamwa.
Okwogera bino Kyagulanyi yabadde ku kkooti enkulu mu Kampala ng’Omulamuzi Moses Ssekaana atandika okuwulira omusango gw’okufuna ekibiina kya NUP mu bukyamu olunaku lw’eggulo.
“Museveni akola buli kisoboka nneme kwesimbawo mu kalulu ka 2021. Abaguze bannamateeka bawakkaanye emyaka gyange n’okusoma kwange. Baguze abaneetoolodde era ekisembyeyo bye bya Kibalama naye tewali kigenda kunemesa kwesimbawo.” Kyagulanyi bwe yategeezezza.
Mu Katambi akasaasaanidde Omutimbagano, Kibalama yategeezezza nti eby’okukyusa ekibiina n’akiwa Kyagulanyi awamu n’okukkiriza bye yamusuubiza yabikola tasoose kulowooza bulungi.
“Mu butuufu oli bw’akuwa ddiiru ennungi ey’obukadde bwa ddoola 5 toyinza kuzigaana. Twagudde mu katego, yatusuubiza bingi netumwesiga, naye olw’okuba twali tetukolangako nabo, twali tetubamanyi bulungi.” Kibalama bwe yannyonnyodde.
Olwaleero ku Lwokutaano, Omulamuzi wa kkooti enkulu etawulula enkaayana, Moses Ssekaana bwe yabadde awulira omusango guno yategeezezza nti olw’ensonga nti Kibalama yakyusizza ekiragiro kye yasooka okukuba ng’alaga nti obukulembeze bw’ekibiina bwakyusibwa mu butuufu.
Kati Kibalama ne Kakonge Ssimbwa balina okulabikako mu kkooti nga 25/09/2021 mu omusango guddamu okuwulira abuuzibwe ku kirayiro ekiraga nti tewali ttabamiruka wa kibiina ekwawukana n’ekirayiro kye yasooka okukuba nga kiraga nti baamutuuza era buli kimu kyali mu mateeka.
Kyagulanyi yategeezezza ku kkooti nti, ebigambo bino Kibalama yakakiddwa okubyogera.
“Akatambi nakalabye nga sikkiriza naye nkimanyi nti yakakiddwa. Eky’omusuubiza ssente kya bulalu bakikoze kulaba ng’abawagizi baffe batubuusabuusa, tetugenda kupowa.” Kyagulanyi bwe yalambuludde.
Okuva lweyayingira eby’obufuzi n’alangirira nti ayagala kwesimbawo ku bwapulezidenti mu kalulu ka 2021, Kyagulanyi asanze emisanvu egiwerako era nga gyonna alumiriza nti gikolebwa Pulezidenti Museveni atayagala amwesimbeko.