Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu, agamba nti kkooti mu ggwanga ziri ku kigezo era ayagala ewere Mwami Museveni obutaddamu kwesimbawo kuba aludde ng’abba akalulu.
“Kkooti esazeemu okulonda kuno ne Mwami Museveni bamuwere okwesimbawo bw’ebanga kkooti esala mazima.” Kyagulanyi bw’ategeezezza bannakibiina abaawangulwa mu kalulu ka 2021 b’agamba nti abamu babbibwa.
Kyagulanyi agamba nti kkooti eri ku kigezo nga bwe kyali ku kakiiko k’ebyokulonda akakulirwa Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, kuba bannayuganda bagoberera buli kimu.
“Kkooti eri ku kigezo okulaga nti oba ekolera bannayuganda oba esala mazima n’obwenkanya,” Kyagulanyi bw’agasseeko.
Ono annyonnyodde nti balina obujulizi bwonna kkooti kw’erina okuyimirira okusazaamu okulonda kuno bw’eba ng’egoberera mazima nga bwe kirina okubeera. Kyagulanyi yeekokkodde ekiwenda kya ‘Pandagaali’ ng’abawagizi baabwe ab’enjawulo bakwatibwa ne basibibwa mu makomera ag’enjawulo gye bali mukutulugunyizibwa ate waliwo n’abaawambibwa n’okutuusa kati nga tewali amanyi gye bali.
Ku by’okulumba ogumu ku mikutu gy’amawulire, Kyagulanyi agamba nti bakikoze wakati mu mukwano okulaga obutali bumativu era takyejjusa. Era alowooza nti buli kitongole kyonna ekibeera kikoze ensobi kirina okugambibwako kuba tewali bali waggulu w’amateeka.
Ate Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Lubongoya agambye nti bannayuganda balina okusigala n’essuubi kuba kkooti esobola okusala amazima.
Lubongoya ategeezezza nti abawagizi baabwe abasoba mu 3000 baawambibwa ate n’abalala tebamanyise wa gye bali nga n’abakulu mu kibiina bali mu kutiisibwatiisibwa.
Bano bataddewo ennamba abantu abaawambibwako abaabwe kwe balina okukuba ne babawa ebibakwatako.