Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Museveni ategeezezza nga bw’ayungudde bakomando okuva mu UPDF okukola ku bwegugungo obuyinza okubaawo nga tugenda okulonda n’oluvannyuma lw’okulonda.
Bino Museveni yabitegeezezza bannayuganda eggulo bwe yabadde awa obubaka bwe obumalako omwaka gwa 2020 n’okwaniriza 2021.
Museveni yagambye nti oluvannyuma lw’okwekalakaasa okwabalukawo mu kibuga nga Novemba 18 obwaleka nga abantu 50 bakufiiriddemu olw’okuwakanya okukwatibwa kwa Kyagulanyi, yasazeewo okuleeta bakomando bang’ange embeera.
“Bino byonna byava ku kubulwa mpisa wamu n’ebikolwa by’obuzzi bw’emisango ebiri mu bantu b’oludda oluvuganya gavumenti ebyavaamu okwekalakaasa. Nayungula abajaasi baffe abatendeke obulungi ababadde e Somalia ne Congo nga balwanyisa ADF olw’obunafu obuli mu poliisi eyakkiriza ebintundu bya Kampala ebimu okuba nga tebikyayitikamu.” Museveni bwe yagambye.
Ono yasiimye bannamagye bano abaateekebwa mu bitundu by’ekibuga b’agamba nti bakoze kinene okufuuza abazzi b’emisango.
“Basobodde okukwata ku bazzi b’emisango ab’olulango abamanyiddwa era abasinga ku bano bakolaganye bulungi ne poliisi.” Museveni bwe yannyonnyodde.
Ne ku mulundi guno, Museveni yakolokose abapoliisi bagamba nti baali balemeddwa okukola ku Kyagulanyi okutuusa lwe yayimbula amajgye era nga gano okutwaliza awamu gakoze omulimu mulungi.
Museveni omwezi oguwedde yakola enkyukakyuka mu poliisi okwetaasa ku kawukuumi era eyali omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj. Gen Sabiiti Muzeeyi, n’amusikiza Maj. Gen. Paul Lokech.
Sabiiti namusindika ku kitebe ky’amagye e Mbuya nga bw’alinda okuweebwa obuvunaanyizibwa obuggya.
“Baali bafunyeemu kawukuumi n’enkola enkyukakyuka, nagamba poliisi nti sijja kugumiikiriza bunafu bwabwe wadde eddakiika, omuntu yenna atasobola kukuuma bannayuganda agenda ewaabwe alunde embuzi.” Museveni bwe yakangula ku ddoboozi gyebuvuddeko.
Ku kulonda okubindabinda, Museveni yalabudde okukola ku muntu yenna ayagala okutabangula okulonda kwa 2021.
“Njagala okuwa amagezi ab’oludda oluvuganya naddala abo abatiisatiisa nti tekijja kukola. Tewali muntu alina kutiisatiisa bannayuganda. Bw’oyagala nkwegatteko, nsikiriza. Kino tetugenda kigumiikiriza.” Museveni bwe yalabudde.