Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, afulumizza ekiragiro ekikambwe ng’alagira obukulembeze bw’obutale awamu ne Lufula za gavumenti mu Kampala busattululwe mu bwangu.
Okusinziira ku bbaluwa, Museveni gye yawandiikira Minisita wa Kampala Betty Amongi nga September 22, 2020, Pulezidenti Museveni yategeezezza nti akooye abantu abajja nebawamba obutale ne Lufula.
Ono yategeezezza nti bano beerimbika mu kukulembera ebibiina by’abasuubuzi olwo ne balyoka babanyunyunta n’okubabba.
“Abasuubuzi 122400 abakolera mu butale bwa gavumenti 16 wamu n’abakinjagi 280 abali mu Lufula za gavumenti 6 banyunyuntibwa obubinja obuwamba obukulembeze bw’ebibiina by’abasuubuzi mu bifo bino olwo nebatandika okubanyaga nga babasaba omusolo,” Museveni bwe yagambye mu bbaluwa.
Ebbaluwa ennyonnyola nti, loole z’amatooke eziyingira mu katale eggyibwako ssente wakati w’emitwalo 5 n’emitwalo 7 buli emu ate ng’abasuubuzi ettooke balisasulira wakati w’olukumi n’enkumi ssatu buli nkota kyokka nga balina n’okusasula ssiringi 12500 ez’omudaala.
Museveni yategeezezza nti mu butale obulala obw’ebweru omusuubuzi asasula emitwalo 30 buli mwezi, n’asabibwa 2000 buli lunaku. Kuno agattako ssiringi 200 eza kaabuyonjo ne ssiringi 500 ez’ekidomola ky’amazzi awamu ne ssiringi 880 ku buli yuniti y’amasannyalaze gy’akozesa.
Pulezidenti Museveni yagambye nti kino kikontana n’ekiragiro kye yateekawo okuziyiza okunyunyunta abasuubuzi n’ategeeza nti omusuubuzi alina kusasula ssiringi 78000 omwaka nga zino zaakukolera mu katale.
Wano Pulezidenti Museveni we yasinzidde n’ayisa ekiragiro ekiragira Minisita okusattulula obukulembeze bwonna obubadde mu muze guno era n’amusaba ategeke okulonda okuggya abasuubuzi beerondemu abakulembeze abapya.
Museveni yalagidde Minisita Amongi okwetegereza ensonga y’abamu ku bakulembeze okwewandiisa nga bannannyini butale bano mu kifo ky’abakulembeze b’ebibiina by’abasuubuzi.
Yalagidde abakulembeze abeefuula bannyini butale buno basooke badde ebbali ensonga z’obutale zino zisooke zitereezebwe.