Bya Ssemakula John
Kampala
Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRm) era Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ayise Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga n’Omumyuka we Jacob Oulanyah bateese ku kalumanywera ali ku kifo kya Sipiika anaakubiriza Palamenti y’e 11.
Embiranye eyamanyi eri wakati wa Sipiika aliko kati era amaze emyaka 10 nga ali mu kifo kino Rebecca Kadaga n’omumyuka we Jacob Oulanyah.
Ensonda ezeesigika mu maka g’Obwapulezidenti zitegeezezza nga Pulezidenti Museveni bwagenda okusisinkana ababiri bano olwa leero, nga ekikulu ekigenda okwogerwako lwe lwokaano lwa Sipiika.
Waliwo amaloobozi agabadde gawulirwa nti akakiiko ka NRM ak’okuntikko akamanyiddwa nga CECE nti kawagira Jacob Oulanyah kuba bakkiriziganya kino kibeere ekisanja kya Kadaga ekisembayo wadde Kadaga agamba nti kino ssi kituufu abakulu bonna bawagira ye.
Wadde Kadaga yatongozza kakuyege w’okunoonya akalulu yeddize ekifo kino, Oulanyah ye tannavaamu kyamaanyi nga buli ensonga eno lwevaayo ajjuliza kimu nti abakulira ekibiina bajja kusalawo anavuganyiza ku kaadi y’ekibiina.
Obutakkaanya bwa bano bweyongedde nga buli ludda lulumiriza lunnaalwo okumansa ebigambo ku lunnaalwo ekyawaliriza Ssaabawandiisi w’ekibiina, Justine Kasule Lumumba okusaba enjuyi zombi okwekomako.
Wabula olwa leero kisuubirwa nti akulira ekibiina kya NRM agenda kwogerako nabo basobole okutta ku bigere n’okweyogerera amafukuule kuba kittatana ekibiina.
Yo NRM ng’ ekibiina egenda kubeera n’olusirika lw’ababaka abalonde e Kyankwanzi okusalawo ani anaakwatira ekibiina bbendera ku kifo kino.
Ssentebe wa NRM era asuubirwa okwogera n’abavuganya ku kifo ky’omumyuka wa Sipiika abali mu kibiina kya NRM.
Abavuganya ku kifo kino kuliko omubaka omukyala owa Bukedea Annet Anita Among, Minisita David Bahati ne Robinah Rwakoojo.
Wadde obukakafu bwebyo ebigenda okuteesebwako tebimanyiddwa, ensonda mu maka g’Obwapulezidenti zikakasa nti Dr. Ruhakana Rugunda yagenda okukubiriza ensisinkano zino.