Bya Ssemakula John
Entebbe
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abakulembeze abavuddeyo okuvumirira ekya Uganda okuzimba enguudo mu munda mu ggwanga lya Congo.
Ono abadde yeetabye mu bikujjuko by’okukuza ameefuga ga Uganda aga 58, agakwatiddwa mu nkola ya ssaayansi. Agambye nti enguudo zino zigenda kusinga kuganyula Uganda.
Museveni yeewuunyizza engeri ababaka mu Palamenti gye babadde bawakanyaamu ensonga eno nga bagamba nti ne Uganda nayo erina enguudo embi.
“Bwetuba twagala okuzimba enguudo embi ze tulina, twetaaga okusuubuligana ne Congo wamu ne South Sudan, tetugenda ku kyogerako bwogezi. Enguudo zino ze tugenda okuzimba e Congo zaakutuyamba kusuubuligana tufune ssente ezinaakola enguudo zaffe embi.” Museveni bw’agambye.
Kino kiddiridde kabbineeti okukkiriza Uganda ezimbe enguudo okuli; oluva e Kasindi okutuuka e Beni nga zino ziwerako kilomita 80.
Olugendo olulala lwe lwa Beni-Butembo lwa kkiromita 54 n’olulala oluva e Bunagana e Kisoro okugenda e Goma nga luwerako kkiromita 89.
Pulezidenti Museveni era ategeezezza nti tawagira kyakuzza buggya endagaano y’ekitongole kya UMEME ey’emwaka 25, eggwaako mu 2025 kubanga bayitiridde okunyunyuta bannansi.
Museveni agasseeko nti kikyamu amakampuni amanene mu ggwanga okukozesa eggaaliyoomukka n’amasannyalaze okufunamu amagoba amangi.
Ono annyonnyodde nti olw’okuba abaddukanya UMEME baagala okuwa amagoba agawera eri bannannyini migabo mu kitongole kino.
Ono ategeezezza nga bamusigansimbi bwebatunuulira ennyo okukola amagoba era nga baagala mangi si matono nga tebafaayo ku muntu gwe bagaggyako.