Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aweze dduyiro akolebwa mu luguudo n’agamba abo bonna ababadde bakikola bakikomye.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga mu maka g’obwapulezidenti mu Kampala, Museveni agambye abo bonna abaagala okukola dduyiro bakikolera mu nju zaabwe oba mu mpya zaabwe.
“Mukomye okuddukira mu luguudo kubanga kino kyabulabe gyemuli,” Museveni bweyagambye.
Ono era yaweze ne boda boda zonna okutambula okusukka essaawa munaana ez’ettuntu.
Ebyo nga bikyalyawo, omuntu omulala omu asangiddwa n’ekirwadde kino nga kino kiwezezza omuwendo gw’abantu 54 abalina coronaviru mu Uganda.