Bya Musasi Waffe
Kampala
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atabukidde abantu abamuyeeya nga bagamba nti akuze mu myaka era takyasobola kukulembera Uganda, n’agamba nti ebigambo bya bano tebiriimu makulu. Abasabye okutunuulira nteekateeka z’alina beesonyiwe emyaka gye.
Museveni yategeezezza abawagizi be okwesonyiwa abamulangira obukadde naye banoonye akalulu era bafube okulaba nga bawangula akalulu ka 2021.
Bino, Museveni yabyogeredde ku Ssettendero wa Muni University mu Arua bwe yabadde asisinkanye abakulembeze b’ekibiina abalina okubunyisa enjiri n’okunoonya akalulu.
“Bino si bya ssomo likwata ku bulamu na buttoned (Biology) gye bakubaganyiza ebirowoozo ku bato n’abakuze. Twogera ku birowoozo n’ensonga ebizimba era mu zo osobola okuba omutuufu oba omukyamu. Nze ndi mukulisitaayo era obukulisitaayo bwadda naye kye mugamba tubusuulewo kubanga bumaze emyaka mingi? Tuve ne ku mateeka ga Musa olw’okuba gamaze emyaka 4000?” Museveni bwe yategeezezza.
Wadde nga Museveni alina emyaka 76, y’omu ku beesimbyewo era ng’ayagala ekisanja kya mukaaga, ekintu abamuvuganya kye bagamba nti tekisaanidde era nga n’ebintu bikyuka buli kadde.
Museveni bano abasabye bakomye ebiboozi ebitalina makulu kubanga naye we yabeerera mu myaka 20, yali agoberera eyali Pulezidenti wa Tanzania Mwalimu Julius Nyerere eyali mu myaka 50.Yagasseeko nti alina bingi bye yayiga ng’okwegatta kwa East Africa n’okununula South Africa mu bukabbulu.
Ono yayongeddeko nti ekikulu kwe kulaba obutuufu oba obukyamu bw’ekirowoozo naye ate abamu bwe balandukira ku by’emyaka, kyeraga lwattu nti ebibeera byogerwa baba tebabitegeera.
Museveni, wansi w’omulamwa ogw’okunyweza ebiseera bya bannayuganda eby’omu maaso, yategeezezza nti ayagala bannayuganda bamwongere emyaka 5 asobole okunyweza ebyo by’asobodde okukolera eggwanga.
Yasabye bannakibiina okunnyonnyola abantu ebirungi ekibiina bye kikoze basobole okwongera okukyesiga.