Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abantu okwambala masiki; obuwero obubikka ku mimwa n’enyindo okusobolaa okulwanyisa senyiga wa Covid-19.
Bwabadde ayogera oluvanyuma lw’okulambula ekitundu ky’e Kitubulu okulaba amazzi butya bwegatigomya ebeeyo, Museveni agambye nti abantu tebateekeddwa kujja buwero buno ku mimwa newankubadde boogera.
“Abantu kirabika tebannategeera mugaso gwa masiki balowooza kyakwewunda. Tetwagala kulaba nga masiki zino zireebeetera mu bulago. Masiki giteeke ku mimwa n’ennyindo obudde bwonna.
Newankubade mga oyogera kubanga okugijjako kitegeeza kusiiga ndwadde,” Museveni bweyagambye mukiwandiiko ekyafulumiziddwa amaka g’obwapulezidenti.
Museveni abadde ayimiriddeko Kitubulu okulaba amazzi g’enyanja Nalubaale ag’eyongedde oluvanyuma lw’annamutikkwa w’enkuba ali mukufudemba.
Amazzi amangi bwegati gasemba kulabibwako mu 1964 agatuuka mu buwanvu bwa mita 13.4.
Kyokka Museveni yagambye newankubadde amazzi ag’eyongedde tegagenda kukosa ddaamu z’amasanyalaze.