Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga munnamagye, Gen Yoweri Kaguta Museveni alabudde Bannayuganda ku kabenje akali mu kirwadde kya coronavirus n’agamab nti singa abakwata tebamwekwasa.
Bwabadde ayogera ng’eggwanga likuza olunaku lw’abazira olw’omulundi 31, Museveni agambye nti newankubadde agezezzaako okusomesa abantu obulabe obuli mu bulwadde buno, bangi kirabika tebakyawulira.
“Nnantabuulirirwa asabala bwabbumba, tubagambye mwambale masiki, tubagambye tonsemberera, naye bwogenda mu kibuga osanga abantu nga tebeefiirayo kubanga tewali muntu yenna yaafudde,” Museveni bwagambye.
Ayongeddeko nti olw’okuba Uganda tennafiirwa muntu yenna tekitegeeza nti obulwadde tebuliiwo.
Yagambye nti abasawo bagezezzaako okutaasa obulamu bw’abantu kubanga abalwadde babadde bakyali batono, naye bwebaneeyongera kino kiyinza okuba ekizibu.
“Abakugu baffe bagamba nti tulina ebitanda by’abalwadde 9000 naye nabagambye nti babifuule 40,000. Ekisaawe nga Nmaboole nakyo kyakufuulibwa ddwaliro. Naye singa abalwadde beeyongera nabino ebitanda tebijja kumala,” Museveni bweyagambye.
Yayongeddeko nti Bannassayansi bali mu kugezaako kufuna ddaggala ly’akirwadde kino ng’ekibalemesezza kyokka y’enguzi mu gavumenti.
Yalabudde nti omulundi guno tagenda kuttira muntu yenna ku liiso anaasangibwa nga yeenyingira mu bikolwa by’obuli bwenguzi.
W’osomera bino nga Uganda erina abalwadde ba kolona 557.