Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Museveni alagidde poliisi ekwate abantu abasaasaanya amawulire ag’obulimba ku Ssaabasajja Kabaka.
Museveni agambye nti ennaku zino abantu omutimbagano bagukozesa nga bwebasanze nga tebafaayo ku byebateekako.
“Nawulidde nga abantu abamu bagamba nti waliwo eyawadde Kabaka Mutebi Obutwa, oluvanyuma ne bagamba nti yabadde afudde! Abantu batandika batya okweyisa mu ngeri eno?? Teebereza okubikka omuntu nti afudde kyokka nga waali!!” Museveni bweyanyonyodde
Bino okubyogera Museveni abadde asisinkanye bannakibiina ki National Resisitance Movement (NRM) mu maka g’obwapulezidenti Entebbe ku mukolo mwebalangiriridde ebyavudde mukulonda akakiiko ka CEC.
“Ssinga wabaawo ekintu ekituuka ku Kabaka, waliwo abantu abalina okulangirira abamanyiddwa, ab’omulubiri gyebali, Katikkiro waali. Ggwe ali ku mutimbagano otandika otya okulangirira embeera Kabaka gyalimu!” Museveni bweyabuuzizzza.
Ono yategeezezza nga poliisi bwetandise okubanoonya kubanga bamanyiddwa banyonyole lwaki bateeka abantu ku bunkenke n’amawulire agatali matuufu.
Bino webigidde, nga Katikkiro Charles Peter Mayiga yakamala okwogerako eri Obuganda nabugumya okwesonyiwa engambo eziri ku mutimbagano kubanga Beene gyali mulamu era alamula.
Museveni era yasinzidde wano nalabula bannamawulire beyategeezezza nti bawa amawulire agalina kyekubira nga baagala okulaga oludda oluvuganya nga olw’amaanyi ku NRM, yawadde amagezi abatasobola kwetengerera nga bakola omulimu guno okunoonya ekibanja awalala.
Okugumizza ensonga eno, Museveni yasomye ebyavudde mukulonda kw’abantu abaliko obulemu, abakadde n’abavubuka nategeeza nti NRM eyongera kwenyweza kubanga obululu buno bwonna yabadde ebuwangulidde waggulu.
Ono abadde omukambwe era yategeezezza nti tajja kukkiriza muntu yenna agezaako okwekiika mu kkubo lyabwe. Museveni yanyonyodde nti bagenda okusalawo okulwanyisa Amin bali bamaze okukisalawo nebweyandibadde nga tasse bantu baali bakumuggya mubuyinza.
Museveni yategeezezza nga Federo ye gyayagala bweri eya East Africa so ssi ey’ebitundu munda muggwanga kubanga bino ‘Local Governments’ ezabiweebwa ebimala.