Bya Ssemakula John
Kampala
Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, alagidde Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija wamu n’ebitongole ebirwanyisa obukenuzi okunoonyereza ku muteesiteesi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi, Keith Muhakanizi,wamu n’abalala, ku bya ssente za Democratic Governance Facility (DGF).
Bino biri mu bbaluwa Museveni gye yawandiikidde Minisita Matia Kasaija, akakiiko akalwanyisa enguzi aka Lt. Col. Edith Nakalema, Kaliisoliiso wa gavumenti wamu n’ebitongole ebirala,
Museveni mwe yalagidde nti kizibu okutegeera lwaki Muhakanizi yakkiriza ssente zino okusaasaanyizibwa wadde baali tebatuukirizza bukkwakulizo, ate nga wadde Minisitule y’ebyensimbi yagezaako okuwaayo omuntu atuule ku bboodi ya DGF, bano baakigaana nga bagamba nti tekyetaagisa.
“Kisoboka kitya nti ensonga za bannayuganda eziri wano ate tebakkirizibwa kuzirondoola wabula okuziraba obulabi. Kuno si kuteeka ssente mu kkampuni ya bwannannyini, naye kuteeka ssente mu bibiina ebyenjawulo ebyagala okutuukiriza ekigendererwa ky’abagwira. Kyajja kitya era lwaki bakkiriza ekintu bwe kiti ekiteeka Uganda mu katyabaga era ne bikolebwa awatali kutegeeza ku Kabbineeti.” Ebbaluwa bw’egambye.
Pulezidenti Museveni ategeezezza nti kino tasobola kukikkiriza era abo abalina kye bamanyi ku nsonga eno balina okubonerezebwa.
Okusinziira ku bbaluwa eriko omukono gwa pulezidenti Museveni eyawandiikiddwa nga 2, 01, 2021, ono atadde ku nninga abakulu mu minisitule y’ebyensimbi bannyonnyole lwaki bakkiriza ssente eziwera obukadde bwa Pawundi 100 kiramba (mu za Uganda obuwumbi 500.8) okuyingira munda mu ggwanga nga Kabbineeti tezimanyiiko.
“Nategeezeddwa nti Minisitule y’ebyensimbi ng’ekulirwa Omuteesiteesi omukulu, Keith Muhakanizi, baayingiza ssente eziwera obuwumbi bwa Pawundi 100 mu ngeri emenya amateeka nga zino zaali zaakulabirirwa mawanga g’ebweru awatali kwebuuza ku gavumenti ya Uganda.” Ebbaluwa ya Museveni bw’esomye.
Museveni agamba nti ku nsimbi endala ezibadde zisaasaanyizibwa nga gavumenti ebaako n’omuntu azirondoola okuva mu gavumenti n’ekiteekawo obwerufu, ekintu ekitakoleddwa ku mulundi guno.
Pulezidenti Museveni eyawulikise nga mukambwe mu bbaluwa gye yawandiikidde Minisita Kasaija, yagambye nti kyategeerekese nga obuwumbi 500.8 ku nsimbi z’ekitavvu kino, zaaweebwayo okutabangula emirembe n’okulwanyisa gavumenti nga beekwese mu kutumbula demokulasiya.
Wabula aba Democratic Governance Facility (DGF) bagamba nti ekitavvu kino kyatondebwawo mu 2011 okulondoola obuvujjirizi bw’amawanga okuli; Austria, Denmark, Ireland, Netherlands, Norway, Sweden, United Kingdom n’omukago gwa Bulaaya.
Ekitavvu kino era kyagendererwamu okukendeeza ku nsimbi ezisaasaanyizibwa okulondoola pulojekiti ez’enjawulo amawanga gano ge ziteekamu ssente kuba ezimu ku zino zibeera zifaanagana.
Ensimbi zino zibadde zivujjirira emirimu gy’ebibiina by’obwannakyewa ebyenjawulo okuli ; Advocates Coalition for development and environment (ACODE), African Leadership Institute, Alliance for Campaign Finance Monitoring (ACFIM), ActionAid International Uganda ne African Centre for Media Excellence awamu n’ebirala.
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Museveni azze ategeeza mu kkampeyini nga bwe waliwo abantu abaagala okutabangula emirembe mu ggwanga nga bino byonna bikolebwa abagwira.