Bya Ssemakula John
Kampala
Ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM), Yoweri Kaguta Museveni, alagidde bannakibiina abavuganya ku kifo ky’Obwasipiika bwa Palamenti okuyimiriza kkampeyini zaabwe kuba zitaatagana ekifaananyi ky’ekibiina.

Pulezidenti Museveni ekiragiro kino yakiyisizza olunaku lw’eggulo bwe yabadde asisinkanye abavuganya okuli Sipiika Jacob Oulanyah ne Rebecca Kadaga mu maka g’Obwapulezidenti.
Kino kyaddiridde enkambi zombi okwemetta enziro wamu n’okweyogerera amafuukule. Ensisinkano eno era yeetabiddwamu abavuganya ku bumyuka bwa Sipiika okuli; Robina Rwakoojo, Anita Among, Oboth Oboth ne Thomas Tayeebwa.
Kigambibwa nti oluvannyuma lwa Sipiika Kadaga ne Oulanyah buli omu okuwaayo ensonga ze, Pulezidenti Museveni yabasabye okuyimiriza kkampeyini.
Bano bakkiriziganyiza okugoberera amateeka agalambika ennonda ya Sipiika kuba kkampeyini babadde bazikedde era nga tezeetaagisa.
Okusinziira ku mateeka agafuga ennonda ya Sipiika, omubaka avaayo n’abaako gw’asemba okufuuka Sipiika era n’annyonnyola ebitontono ebikwata ku yeesimbyewo.
Kinajjukirwa nti nga 10 March, 202, omubaka James Kakooza, yeemulugunya ku bantu abali mu lwokaano lwa Sipiika ng’agamba nti bano baali bakozesa olulimi oluweebuula ekitiibwa kya Palamenti.
Sipiika Rebecca Kadaga naye yavaayo ne yeemulugunya ku kkampeyini omwali okukubisa ebipande ne ssaati ng’agamba nti kakuyege w’Obwasipiika si bw’abeera.
Ono yategeezezza nti waliwo n’ababaka abalonde ababadde batandise okwenyigira mu kkampeyini zino, ekintu ekiweebula ekitiibwa kya Palamenti.
Enkambi zibadde zeeyogerera ebisongovu nga Kadaga alumiriza nti Oulanyah yatya ekiteeso ekiggya ekkomo ku myaka gy’Obwapulezidenti n’akimulekera.