Bya Musasi Waffe
Ndeeba
Pulezidenti Museveni alagidde ekkanisa ya St. Peter’s mu Ndeeba eyamenyeddwa okuddamu okuzimbibwa mu bwangu ddala era nawera nga bweyegasse ku lutalo lw’okunnunula ekkanisa eno.
Museveni yabyogedde ku nkya ya leero bweyabadde alambula ekkanisa eno eyakoneddwa wali mu Ndeeba.
“Ngenda kukubira Bisoopu Kityo Luwalira era ettaka lijja kusigala nga lya kkanisa, negasse mu lutalo luno era tugenda kuzimba ekkanisa empya,” Museveni bweyagambye.
Ekkanisa ya St. Peter’s yasendeddwa mu kiro kya Ssande bawanyondo ba kkooti abafunye olukusa okuva mu Kampala Capital City Authority (KCCA).
Museveni yasabye akakiiko ka ‘ State House Anti Corruption Unit’ akakulirwa Edith Nakalema okunoonyereza ensonga eno. Akakiiko kano kabadde kamaze dda okukwarta abapoliisi wamu n’omukungu wa KCCA bakayambeko mu kunoonyerezza
Omugagga Dodovico yagambibwa okubeera emabega w’okusenda ekkanisa eno nga alumirizza nti ekkanisa yiye.
Museveni yasuubizza ‘Vicar General’ Augustine Kayemba nga bwamaze okuyingira mu nsonga eno agigonjoole.
“Ndi mwenyamivu ku kyatuusewo ku kkanisa eno naye tugenda kubonereza buli yenyigiddemu,” Museveni bweyalambise.
Museveni yategeezezza nti n’ ekkanisa naye yabadde mu nsobi, naye banditudde nebagonjoola ensonga eno nga tebamenye kkanisa.
“Abantu bammwe nga abalamuzi balina okubaako ekkomo, mulabe kyebakoze. Wadde ekkanisa eyinza okuba nga yabadde mu nsobi naye banditudde neboogera mukifo ky’okumenya ekkanisa,” Museveni bweyagambye.
Ono yawakkanyizza ebigambibwa nti gavumenti yabaddemu mu lukwe nategeeza nti ye mukulisitaayo atasobola kukkiriza kino.