Bya Stephen Kulubasi
Pulezidenti Yoweri Museveni alagidde R.C.C wa Kampala, Faridah Mayanja Mpiima wamu ne poliisi ya Kampala n’emiriraano, okukwata boodabooda zonna ze baakwata olw’obusango obutaliimu baziddize bannannyinizo.
Bw’abadde ayogerako eri abakulira abavuzi ba boodabooda, Faridah agambye nti pulezidenti yakwatibwako nnyo olw’obungi bwa boodabooda eziri ku poliisi ez’enjawulo ne yeebuuza engeri bannannyini zo bwe babeezaawo obulamu.
Akulira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, Norman Musinga, agambye mbu boodabooda zigenda kuddizibwa bannannyini zo nga tebasasudde wadde omunwe gw’ennusu. Wabula bannannyini boodabooda zino basabiddwa buli omu okugenda n’empapula entuufu ezikakasa obwannannyini.
R.C.C Mpiima era akakasizza abavuzi ba boodabooda mu kibuga nti, pulezidenti yasuubizza okukomya okutulugunyizibwa kwe bayitamu. Aba boodabooda bo bategeezezza nti baali baakyuka ne beegatta ku ludda lwa munnakibiina kya NUP, Kyagulanyi Ssentamu, nga balowooza nti pulezidenti yabasuulawo naye ne bagamba nti kabasuubire pulezidenti era nga ye Ssentebe w’ekibiina kya NRM anaakuuma ekigambo kye.
Olukiiko luno olwaddiridde ekiragiro kya Pulezidenti lwakulembeddwamu omumyuka wa nnankulu w’ekibuga, David Luyimbaazi Ssali era nga lwetabiddwamu R.C.C , abakungu okuva mu K.C.C.A, abakulu okuva mu poliisi y’ebidduka n’abakulira abavuzi ba booda booda.