Bya Stephen Kulubasi
Entebbe
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannayuganda abategese okwekalakaasa nga bawakkanya ebyavudde mukulonda nti tagenda kubaganya.

Okulabula kuno Museveni akukoledde mu maka g’obwapulezidenti Entebe ku Lwokubiri bwabadde ayogerako eri eggwanga ku mikolo gy’okujaguza emyaka 35 bukya gavumenti ya NRM ejja mu buyinza.
“Obwegugungo tujja ku bulinnya ku nfeete kubanga obusobozi tubulina, era bannayuganda mwenna mbasaba obutageezako kuloota kwegugunga kubanga tekijja kukola” Museveni bw’agambye .
Museveni era asinzidde wano nayozaayoza bannayuganda olw’okulonda obulungi mu Mirembe wadde nga waliwo obubinja bw’abantu abaagala okutegeka obwegugungo nokutiisatiisa bannansi.
Ebijaguzo bino byatandise nakusaba era nga kwakulembeddwa Msgr. Kasibante eyasabye enjuyi zonna ezabadde mu kalulu okutabagana kisobozese eggwanga okugenda mu maaso.
Ku nsonga eno, Pulezidenti Museveni ategeezezza nti talina buzibu ku kutabagana naye nawa eky’okulabirako ky’abantu abaali mu gavumenti ya Amin ne Obote nti bano bamwegattako dda era bakolera wamu naye nakiggumiza nti tagenda kuganya muntu yenna kutabangula mirembe gya bannayuganda.
Museveni yasabye bannayuganda obuteesiba ku njawukana za mawanga ne ddiini kuba tebisobola kutwala ggwanga mu maaso era nasaba bannayuganda okwagala ensi yaabwe nga bakulembeza ebigatta abantu okusinga amawanga gaabwe.
Ono yaggumiza bannayuganda nti newankubadde ng’ekirwadde kya sennyiga Corona kikyaliwo naye ate ebyenfuna bikyatambula bulungi.
Olunaku luno lukuzibwa buli mwaka nga January 26 naye nga ku mulundi guno lukuziddwa mu ngeri ya Sayansi olw’okutangira ekirwadde kya sennyiga Corona.
Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka w’omukulembeze we ggwanga Edward Sekandi, omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga, ssabalamuzi Owiny Dollo, eyali Ssaabaminisita Amama Mbabazi, bannadiini, n’abakungu ab’enjawulo.