![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/04/Museveni-covid.jpg)
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alabudde abasirikale ba LDU okukomya okuyingira mu mayumba g’abantu mbu bassa munkola ekiragiro kya kafiyu.
Kuntandikwa ya wiiki eno, Museveni yalagira abantu okukomya okutambula ku saawa emu ezaakawungeezi okutuuka ku saawa kuminabbiri ez’olweggulo.
“Okolaki mumayumba g’abantu? Kafiyu akola mu luguudo mwokka si mu nyumba z’abantu. Abo betunaakwatako tujja kubakolako ng’obuyinza bwebulagira,” Museveni bweyagambye.
Yalagidde Col. Edith Nakalema akulira akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwapulezidenti okubakwata bonna.
“Muli mbizzi kubanga mwagala kutta bantu baffe,” Museveni bweyagambye.
Omukulembeze w’eggwanga era yalabudde ba Crime Preventers obuteeyingiza mu nteekateeka z’okussa ebiragiro bye mu nkola.
Yagambye nti bwebanaaba bayitiddwa olwo lwebajja okwegatta ku poliisi, amagye, ne LDU.
Museveni era yalabudde abantu okukomya okutambulatambula nagamba nti kino kiremesa gavumentiye okulwanyisa senyiga ono omukambwe.
“Twagala kuwulira ekijja musiriikirire, mulekeraawo okutambulatambula,” Museveni bwagambye.