Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Museveni akungubagidde abadde Pulezidenti wa Tanzania, John Pombe Magufuli, era ng’ono ye mukulembeze owookubiri mu East Africa okufa mu bbanga lya mwaka gumu.
“N’ennaku nnyingi nfunye amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa Pulezidenti John Pombe Magufuli.” Museveni bw’ategeezezza ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter leero ku Lwokuna.
“Twegattira wamu ne Tanzania okunyolwa olw’okuviibwako omu ku bakulembeze ba Afirika abaamaanyi.” Museveni bw’agasseeko.
Museveni ayogedde ku Magufuli ng’omukulembeze ow’enjawulo abadde akola ennyo okulaba nga East Africa yeeyimirizaawo mu byenfuna.
Magufuli yafiiridde ku myaka 61 era okufa kwe kwalangiriddwa eggulo ku Lwokusatu nga kigambibwa nti yafudde kirwadde kya mutima.
Okufa kwe kutuuseewo nga gugenda kuwera omwaka mulamba bukya Pulezidenti wa Burundi Pierre Nkurunziza afa ng’ennaku z’omwezi June 8, 2021.
Magufuli yasemba okulabibwako mu lujjudde ku nkomerero y’omwezi gwa February era bannansi bamaze Ssabbiiti eziwera nga babanja okulaba Pulezidenti waabwe wakati w’engambo okusaasaana nti ono yakwatibwa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Okusinziira ku Ssemateeka wa Tanzania, kati omumyuka we, Samia Suluhu Hassan ajja kulayizibwa nga Pulezidenti mu ssaawa 24 okusobola okumalako ekisanja kya Magufuli ekiggwaako Magufuli.