![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/02/moi.jpg)
Musasi waffe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akungubagidde eyali omukulembeze w’eggwanga lya Kenya, Daniel arap Moi, eyafudde enkya ya leero ku myaka 95. Ng’ayogerako n’omukutu gwa TV y’e Kenya KTN, Museveni agambye nti Moi yali ayagala nnyo eggwanga ly’e Kenya wamu n’omukago ogugatta amawanga g’obuvanjuba bwa Africa.
Museveni yategeezezza nti ga bali wamu n’eyali omukulembeze wa Tanzania, Hassan Mwinyi, Moi bazzaawo omukago guno ogwali gwa sasika mu 1976 olw’obutakkanya wakati w’omukulembeze wa Uganda obudde obo Idi Amin Dada nemunne owa Tanzania, Julius Nyerere.
“Kale tetujja kugamba nti twawangudde kikumi ku kikumi naye lwakiri tufunayo ataano kubanga kati omukago gwaddawo,” Museveni bweyagambye.
Moi yafuga Kenya okuva 1978 oluvanyuma lw’okufa kweyali mukamaawe gwe yali amyuka, Jommo Kenyatta okutuusa mu 2002 bweyawaayo obuyinza oluvanyuma lw’ekibiina kye okuwangulwa omukago gw’ebibiina ogwali gukulirwa eyali pulezidenti Mwai Kibaki.
Tekinategeerekeka ddi Moi lwanaazikibwa wabula omukulembeze wa Kenya Uhuru Kenyatta yalangiridde ebbanga ey’okukungubaga okutuuka nga Moi aziikiddwa.
Kenyatta era yalangiridde nti bendera ya Kenya yakwewuubira wakati mu mirongooti okutuusa nga Moi aziikiddwa.