Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti Yoweri Museveni akubagizza abeng’anda z’abantu abattibwa abatemu b’ebijambiya e Masaka n’e Lwengo ne ssente obukadde 250 bubayambeko okutambuza obulamu.
“Mbayise okukungubagira awamu nammwe. Abatemu tugenda kubafuna. Abamu ku batemu bano tubakutte kuba baliko bye baaleka emabega kwe tusobodde okubalondoolera.” Museveni bw’ategeezezza abeng’anda bano, basisinkanye mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu.
Bano buli maka Pulezidenti abawadde obukadde 10 era amaka agaganyuddwa mu nteekateeka eno gawera 25 nga gonna gaakosebwa ab’ebijambiya.
Okusinziira ku maka g’Obwapulezidenti buli maka ku gano gafunye agakiikiridde era bano be batutte ebbaasa ezibaddemu amataaba gano Pulezidenti Museveni g’abawadde.
Kinajjukirwa nti abantu abasoba 26 bafiiriddwa obulamu olw’obulumbaganyi bw’ebijambiya obuze bubeera mu kitundu ky’e Masaka naddala mu Buddu n’e Lwengo.
Eyakulembeddemu abantu bano, Mary Goretti Nkwanzi ategeezezza Pulezidenti nti obudde bwa kafyu buwadde abatemu ekyanya okulumba abatuuze awatali muntu yenna abayimiriza kuba abasinga babeera beggalidde dda.
“Okuggala amasomero kuleetedde abaana bangi okukozesa ebiragalalagala n’omwenge era bano be batandise okututirimbula. Obutaba na masannyalaze kibongedde omukisa okwekweka ekiro okututigomya era nga n’ebbula ly’emirimu lingi mu kitundu kyaffe.” Nkwanzi bw’annyonnyodde.
Bw’abadde ayanukula, Pulezidenti Museveni akakasizza ng’abantu bano bonna bwe bagenda okukwatibwa.
“Twateekawo kafyu okukomya ekirwadde kya COVID-19 naye tetwagaana bantu kwerwanako. Abantu bangi bafudde okuli; Omusumba Kaggwa, Freda Mubanda Kasse ne Ssentongo. Tufiiriddwa abantu 3000 naye ensi endala zifiiriddwa bangi okusingako awo.” Museveni bw’annyonnyodde.
Pulezidenti Museveni akakasizza bano nga bw’agenda okukola buli kimu okutuusa amasannyalaze mu bitundu byabwe basobole okulwanyisa obumenyi bw’amateeka.
Bino we bijjidde nga bannabyabufuzi okuli; Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewanyana nga baasindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’obutemu bw’ebijambiya.