Musasi waffe
Eggulo lyaleero omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu baminisitabe mwalondedde abamu saako okusuula abalala. Mubasuuliddwa kuliko Haji Abdul Nadduli abadde akola nga minisita owaguno naguli. Mubalala kuliko minisita abadde avunanyizibwa ku masanyalaze n’obugagga bw’omuttaka, Irene Muloni, Monica Ntege Azuba abadde avunanyibwa ku nguudo saako ne Charles Bakabulindi abadde avunanyizibwa kubyemizannyo. Ate mubalondeddwa kuliko Raphael Magyezi g’ono alondeddwa okubeera minisita avunanyibwa ku gavumenti z’ebitundu. Ono ajjukira nnyo olw’okuleeta ekiteeso ekyajja ekkomo ku myaka gyessalira omukulmbeze w’eggwanga kwerina okwesimbawo. Mubalala abalondeddwa kuliko Judith Nabakooba, ono alondeddwa ku bwa minisita avunanyibwa ku tekinologiya, Molly Kamukama, ono abadde muwandiisi wa pulezidenti owekyama kati nga alondeddwa nga minisita avunanyizibwa kukolondoola ebyenfuna, Robinah Nabbanja ono ye minisita omubeezi kati avunanyizibwa ku by’obulamu, Beatrice Anywar, kati minisita omubeezi avunanyibwa ku butonde bwensi, Dr Keneth Omona, kati ye muwandiisi wa pulezidenti owekyama ne Denis Obua Hamson, yasikidde Bakabulindi nga minisita omubeezi oweminzannyo.
Olukalala mu bujjuvu
Alondeddwa | Ekifo |
Edward Kiwanuka Ssekandi | Omumyuka wa Pulezidenti |
Dr Ruhakana Rugunda | Ssabaminista |
GEN. MOSES ALI | Omumyuka wa Ssabaminista asooka |
Kirunda Kivejinja | Omumyuka wa Ssabaminisita owookubiri |
Museveni Kataha Janet | Byanjigiriza n’emizannyo |
Esther Mabyo | Maka g’obwapulezidenti |
Busingye Mary Karooro Okurut | Guno naguli |
Onek Hilary | Bigwa bitalaze |
Ruth Nankabirwa | Nnampala wa gavumenti |
Gen Kahinda Otafiire | Ensonga z’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa |
Elly Tumwine | Byabutebenkevu |
Adolf Mwesige | Byakwerinda |
Sam Kahamba Kuteesa | Ensonga z’ebweru |
Gen Jeje Odong | Ensonga z’amunda |
Amelia Anne Kyambadde | Byabusuubuzi |
Matia Kasaija | Byanfuna |
Kitutu Mary | Masanyalaze n’obugagga bw’omuttaka |
Tom Butime | Bulambuzi |
Raphael Magyezi | Gavumenti z’ebitundu |
Katumba Wamala | Byantambula |
BetI Kamya | Ttaka |
Amongi Betty | Kampala |
Dr Ruth Jane Aceng | Byabulamu |
Muruli Mukasa | Bakozi ba gavumenti |
Ephraim Kamuntu | Nsonga za ssemateeka |
William Byaruhanga | Ssabawolereza |
Cheptoris Sam | Amazzi n’obutonde bwensi |
John Byabagambi | Nsonga z’e Karamoja |
Frank Tumwebaze | Kikula ky’abantu |
Judith Nabakooba | Tekinologiya |
Vincent Ssempijja | Byabulimi |
Dr Elioda Tumwesigye | Sayansi n’okunonyereza |
Baminista ababeezi | |
Lokodo Simon | Mpisa n’abuntu bulamu |
Molly Nuwe Kamukama | Kulondoola by’anfuna |
Kasirvu Atwokii | Woofiisi y’omumyuka woomukulembeze |
Musa Ecweru | Bigwa bitalaze |
Moses Kizige | Karamoja |
Kiiza Ernest | Bunyoro |
Dennis Ssozi Galabuzi | Luweero |
Grace Kwinyuucwiny | Amambuka |
Agnes Akiror | Teso |
Dr John Crysostom Muyingo | Byanjigiriza ebya waggulu |
Rosemary sseninde | Byanjigiriza ebisookerwako |
Denis Obua Hmason Maganda Julius Wandera | Byamizannyo |
Col Engola Okello | Byakwerinda |
Christopher Kibazanga | Ensonga z’abazirwanako |
Okello Oryem | Ensonga z’ebweru |
Dr Mateke Phelemon | Ensonga z’ensi ezituliranye |
Obiga Kania | Ensonga z’omunda |
Kafabusa Michael Werikhe | Busuubuzi |
Gume Fredrcik Ngobi | Ebitongol by’obwegassi |
Gabriel Ajedra | Byanfuna |
David Bahati | Okuteekateekera eggwanga |
Anite Evelyn | Okutunda amakampuni ga gavumenti |
Haruna Kasolo | Bbanka entono |
Acheing Sarah Opendi | Ebyobugagga by’omuttaka |
Du’janga Simon | Masanyalaze |
Godfrey Kiwanda | Bulambuzi |
Jennifer Namuyangu | Gavumenti ez’ebitundu |
Peter Lokeris | Byanguudo |
Kabatsi Joy | Byantambula |
Musumba Isaac | Nkulaakulana ya bibuga |
Persis Namuganza | Ttaka |
DR Cris Baryomunsi | Mayumba |
Benny Namugwanya | Kampala |
Nabbanja Robinah | Byabulamu |
Moriku Kaducu | Byabulamu ebisookerwako |
David Karubanga | Bakozi ba gavumenti |
Kafuuzi Jackson | Ssabawolereza |
Kibuule Ronald | Mazzi |
Beatrice Anywar | Butonde bwansi |
Ogwang Peter | Tekinologiya |
Florence Nakiwala Kiyingi | Abaana |
Peace Mutuuzo | Obuwangwa |
Mwesigwa Rukutana | Nakozi |
Aggrey Bagiire | Byabulimi |
Bright Rwamirama | amagana |
Adoa Hellen | Buvubi |
Abawabuzi ba Pulezidenti | |
Janat Mukwaya | |
Haj Nadduli Abdur | |
Muloni Irene | |
Monica Azuba | |
Onzima Alex | |
Dr Kenth Omona | Muwandiisi owekyama owa pulezidenti |