Musasi waffe
Omukumbeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkirizza abakulembeze b’enzikiriza okwenyigira mu kaweefube w’okugaba emmere.
Bino byatuukiddwako mu nsisiinkano bano gyebabadde nayo mu maka gw’obwapulezidenti Entebbe.
Okusinziira kukiwandiiko ekyafulumiziddwa Lindah Nabusayi, munnamawulire w’omukulembeze w’ggwanga, Bannaddiini abatabibwa ekibiina kyabwe ekya Interreligious Council of Uganda baabadde bakulembeddwamu ssentebe waabwe era Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje.
Bano baategeezezza Museveni nti balina emirandira egituukira ddala wansi ku byalo nga n’olwekyo kyabadde kigwana nabo okwenyigira mu nteekateeka eno.
Museveni yalagira gavumentiye egaba emmere mu disitulikiti y’e Wakiso wamu ne Kampala oluvanyuma lw’okuggalawo eggwanga olw’okutangira ensaasaana y’ekirwadde kya coronavirus.
Wabula ne gyebuli kati kyenkana omwezi mulamba, abagigaba tabannaba kumalako disitulikiti zino.
Museveni yasabye Bannaddiini babe baamazima mu kugaba emmera n’ategeeza nti balina okugiwa abo bokka abakkiriziganyizibwako okugifuna.
Bano yagambye be bankola zaalero.
“Tetwagala kulemaza bantu nga tubawa emmere, mulina kugiwa abo bokka abasaanidde. Nebwetuba tukuza abaana mumaka, tuleme kubamanyiiza bintu by’abwerere,”Museveni bweyagambye.
Bisopu Joshua Lwere akulira ekibiina ekigatta Amakanisa g’abalokole yagambye nti Bannadiini beesigika abantu ng’ate basobola okubatuukako mu budde obutono ennyo.
Olukungaana lwetabiddwamu Ssaabasumba Dr Cyprian Kizito Lwanga, Ssaabalabirizi Dr Steven Kazimba Mugalu wamu ne Pastor Dr Joseph Sserwadda n’abalala.