Bya Ssemakula John
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala eyimbudde Munnamateeka Nicholas Opio, leero ku Lwokusatu ku kakalu ka kkooti ka bukadde 15 ez’obuliwo.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/Opio.png)
Omulamuzi Jane Okuo Kajuga y’ayimbudde Opio mu lutuula olutudde ku kkooti esookerwako ku Buganda Road.
Bw’abadde ayimbula Opio, Omulamuzi Kajuga agambye nti wadde oludda oluwaabi lwali lutegeezezza nti emisango gino minene nnyo naye bikyali bigambo bugambo okutuusa nga lufunye obujulizi obumuluma.
Nicholas Opio yali yasindikibwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya nga 24 Decemba oluvannyuma lw’okuvunaanibwa omusango gw’okukusa ssente wamu n’okulemwa okwanja ebitabo bye eri ab’obuyinza.
Kigambibwa nti Opio yafuna ssente eziwera akawumbi kamu n’obukadde bubiri (1.2bn) ng’ayitira mu kibiina kye eky’obwannakyewa ekya Chapter 4 Uganda, gavumenti z’egamba nti zaali ziweereddwa okweyambisibwa okuzza emisango.
Olutuula lwa kkooti luno lubadde lukubyeko abakungu b’amawanga ag’ebweru, bannamateeka wamu n’abalwanirizi b’eddembe ab’enjawulo.
Omuwaabi wa gavumenti yasoose kuwakanya kya kuyimbula Opio ku kakalu ka kkooti ng’agamba nti talina kifo kimanyiddwa nti w’abeera nga kino kisobola okutataaganya omusango.
Ono era annyonnyodde kkooti nti singa Opio ayimbulwa, asobola okuddamu okuzza omusango guno wamu n’okulemesa okunoonyereza kuba babadde tebannafuna bujulizi bwe beetaaga okuva ku kitebe kya Chapter 4 Uganda ky’akulira.
Bannamateeka ba Opio nga bakulembeddwamu David Mpanga, basabye omulamuzi amuyimbule kuba abadde atuukirizza obukwakkulizo bwonna.
Mpanga asabye kkooti eragire poliisi okuddiza Opio Paasipooti ye asobole okutambula w’ayagala era nga ajja kutegeezaako kkooti bw’anaaba waakufuluma eggwanga.