Musasi waffe
Munnamagye Maj. Gen. Samuel Kasirye Ggwanga afudde. Ono amaze akabanga ng’atawanyizibwa obulwadde.
Kasirye Gwanga afudde enkya ya leero mu ddwaliro e Nakasero mu Kampala gyeyali yaddusibbwa omwezi oguwedde ng’ali mu mbeera mbi.
Kigambibwa nti nga May 27, ono yatwalibwa mu kasenge k’abayi akamanyiddwa nga Intensive Care Unit wabula nga tasobodde kuvaayo.
Wiiki ewedde, emikutu eminyumiza wala giyite Social Media, gyatandika okumubika wabula abaffamireye nebavaayo nebatangaaza nti newankubadde omuntu waabwe ali mu mbeera mbi, naye akyali mulamu.
Mu March omwaka guno amagye ga UPDF gaatwala Kasirye Gwanga mu ddwaliro lyago e Mbuya okuberebwa kyokka nga tebaayogera kiki ekyali kimuluma.
Ono yagamba ng’amunnamagye eyagannyuka, tewaali nsonga lwaki yali atwalibwa mu ddwaliro ly’amagye.
Yategeeza nti okwawukana kubyali byogerwa, amagye gaali gamukutte kunsonga ezitaayatulwa.
Mu bulamu Kasirye Gwanga abadde musajja atanyigirwa munnoga, ayagala okukozesa emmunduye wewabaawo amutaataaganyizza.
Gyebuvuddeko katono, ono abadde akuba emmotoka ezeetisse amanda oba emiti, amasasi n’azaasa emipiira nga avunaana bannayinizo okusaanyaawo obutonde bwensi.
Kasirye Gwanga era gyebuvuddeko yakuba emmotoka y’omuyimbi Catherine Kusasira amasasi lwakunyiiza baanabe abaali baakava mu America.
Era ono ajjukirwa bweyayokya tulakita eyali etwalibbwa okusenda ettakalye e Kajjansi.
Kasirye Gwanga yazaalibwa mu disitulikiti y’e Mubende mu 1952 nasomera e Katakala Primary School, gyeyava nagenda mu Kibuli Secondary School oluvanyuma neyeegatta ku magye mu 1972 geyabeeramu paka mu 2018 bweyawumuzibwa ku ddala lya Maj. Gen.
Eby’okuziika kwa Kasirye-Gwanga tebinnaba kutegeerebwa.