Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Minisita w’Obuwangwa n’ennono mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. David Kyewalabye Male, yasabye abaami b’amagombolola wamu n’abamasaza okukola buli kimu okulwanirira ebya Buganda mu bitundu byabwe.

Owek. Kyewalabye bino yabyogeredde mu Bulange olunaku lw’eggulo bwe yabadde atikkula oluwalo olwasobye mu bukadde 40 okuva mu mituba n’amagombolola ag’enjawulo.
Abaakiise embuga kwabaddeko abaavudde mu ssaza lya Ssaabasajja ery’e Buddu , Bannakyadondwa, Bannabutamba, Busiro nabo abaavudde e Ggomba abaakulembeddwamu omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Kitunzi Jackson Musisi Celestino.
“Mugende mu maaso nga mubirwanirira oluusi tufuna obubaka obujjira mu alipoota zammwe nga musuubirayo eggye ezzibizi erigenda okujja libayambe mulwanirire ebintu ebyo, naye nga twemutulabye twenkanawa obungi abali eno. Tusobola okuyambako okuva eno naye amaanyi agasooka gabeere eyo mu mmwe kubanga mwe mubeerayo buli lunaku.” Minisita Kyewalabye bye yagambye.
Minisita Kyewalabye yakuutidde abantu ba Kabaka okutwala olutabaalo ku kirwadde kya Mukenenya nga lukulu naddala ng’abaami bakwata omumuli.
Owek. Kyewalabye era yasinzidde wano n’asaba abakyala obuteesuulirayo gwa Nnagamba kubanga be basinga okukosebwa ekirwadde kino.
Ate ye Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yasiimye abaami ba Kabaka olw’okujjumbira enteekateeka y’oluwalo.
Owek. Kawuki yabalagidde okuyamba abantu mu bitundu by’enjawulo okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona kubanga kino kya bulabe ekiteetaaga kuzannyisa kubanga kikyasensera ebitundu ebyenjawulo.
Omwami wa Ssaabasajja ow’eggombolola mituba IV Masekati g’ekibuga, Henry Male Kawuma, yeebazizza Nnyinimu olw’okubawa ebintu ebibayamba okwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga









