Bya Ssemakula John
Bulange- Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abalonzi okulonda abakulembeze abafaayo ku byenfuna, eddembe ly’obuntu wamu n’Obulamu bw’abantu be bakulembera mu kalulu kano aka 2021.
Okwogera bino Kamalabyonna abadde atikkula Oluwalo olw’obukadde obusobye mu 40 okuva mu Busiro wamu ne bannabyabufuzi abakyadde embuga olunaku lwaleero ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange.
Mu Luwalo lwaleero, eggombolola ya Nsangi y’enywedde akendo n’eddirirwa ab’e Kikandwa.
“Mulonde abantu abo abalina emiramwa egitugasa nga Buganda, mulonde abo abalina emiramwa egikomyawo ekitiibwa kya Uganda okuyitibwa ekkula lya Africa.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti Buganda erina omugabo munene mu Uganda era n’alabula abakola obuzannyo ku masaza agali mu Buganda nga baagala okugawula nti, tebajja kubakkiriza.
Ono agambye nti kasita omuntu assa ekitiibwa mu nnono ya Buganda tebabeera na nsonga lwaki tebatambula naye.
Owek. Mayiga ategeezezza nti kikyamu okulowooza nti ebyobufuzi kazannyo kuba tebisobola kubeera kazannyo ne bizza Buganda ku ntikko wadde okukuza Uganda, kubanga kino kirina kuva mu bukulembeze.
Asabye abantu okwerinda ekirwadde kya Ssennyiga Corona kuba gyekiri era baleme kubuzaabuzibwa byabufuzi, wabula n’avumirira ekya gavumenti okutta abantu ng’erwanyisa Ssennyiga Corona.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza nti enkola y’Oluwalo eyamba okutaba Oluganda kubanga Buganda erimu amawanga mangi era n’ebiti by’abantu bingi era ng’okuva edda Buganda erimu ebintu ebirimu ebibaawula.
Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Christopher Bwanika, ategeezezza nti Oluwalo nkola ya nnono era ne yeebaza abaluleese.
Ono era y’ayanjudde omugenyi wa Katikkiro ow’enjawulo, Omulangira Namuyonjo okuva e Bugerere ng’ono yazze ne ttiimu gy’akola nayo era nga bano baguze emijoozi okusobola okwetaba mu nteekateeka y’emisinde gya Kabaka.
Ssebwana Kiberu Charles Kisiriiza, asiimye obuwulize bw’abaami b’amasaza n’amagombolola. Ono era yeebazizza bannabyabufuzi abakiise embuga olw’okukkiriza okukyala embuga.
Omubaka Medard Ssegona ategeezezza nti ekyabatwala mu Palamenti kwe kukendeeza ku bifunfugu ebikasukirwa Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda, okulaba nti babikwata.
Ono asabye Mukuumaddamula abagambire ku balina emmundu bakomye okutugumbula abantu kubanga kiyitiridde.
Mmeeya wa ttawuni y’e Nsangi, Hajji Abdul Kiyimba, asiimye Katikkiro Mayiga olw’okukolerera Obuganda era n’amusaba amuwaddeko eddusu asobole okuwangula akalulu.
Abalala abeetabye ku mukolo guno kubaddeko Minisita w’ebyettaka era ng’omugenyi ow’enjawulo abadde Omulangira Namuyonjo aguze emijoozi okwenyigira mu nteekateeka y’emisinde gy’Amazaalibwa.