
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akubiriza Abaami ba Kabaka abafunye Pikipiki okuva embuga okuzikozesa nga batuuka ku bantu ba Beene abasokerwako bagamba nti bano bebaliko omulimu ogusinga obunene mu kuzza Buganda ku ntikko .
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde akwasa Abaami ebidduka bino wamu n’okutikkula Oluwalo olusobye mu bukadde 32 okuva mu masaza agali ebweru wa Buganda; Ankole, Busia, Tororo, Malaba ne Rwenzori n’eggombolola ez’enjawulo.
Eggombolola zino zivudde e Buddu, Kyaggwe, Kkooki ne Ssingo wamu n’Ebibiina okuli ‘Buganda Yiyo Buganda Yange’, Buganda kwe kwaffe, n’ekitongole ky’abakyala okuva mu Ggombolola Ssaabagabo Kibibi.
Katikkiro agamba nti obuganda butadde essira mu kutumbula embeera za bantu ba Nnyinimu nga buyita mu byobulamu, eby’enfuna, n’ebyenjigiriza okusobola okukyuusa embeera.
Wano Mukuumaddamula Mayiga wasinzidde nakuutira Abaami bano okunnyikiza kawefube wa Ssaabasajja ow’okumalawo mukenenya mu ggwanga mu mwaka gwa 2030 ng’ abakubiriza abaami okwekebeza sirimu saako n’okutaasa abaana abawala ku kawuka kano.

Ow’omumbuga Abaami abatumye bakubirize abantu okwekuuma,n’okwekebeza sirimu, abavubuka okubeera abagumikiriza n’abafumbo okubeera abesigwa.
Bano kamalabyonna era abasabye okukubiriza abantu ba Beene abatandise okufuna ensimbi okuva mu Mmwanyi okwewala okutamirukuka, obutabanguko mu maka, n’obwenzi ebiyinza okubaviirako okufuna endwadde enkambwe.
Ono era abalabudde obutajja baana baabwe mu masomero nga babatwala okulima emmwanyi naye babaleke basobole okufuna obudde obumala okwekeneenya byebasoma.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza nnyo abavubuka ba Buganda yiyo Buganda yange, n’aba Buganda Kwekwaffe olw’okukozesa obulungi omutimbagano nebagirayo ddala ekitiibwa ky’omulembe Omutebi era nabasaba okwongera okulwanirira ekitiibwa Kya Nnamulondo.
Ono yeebazizza omwami w’eggombolola Mutuba XV Musuugwe Muwanga, eyakulemberamu abantu ba Ssaabasajja okugula ettaka ly’eggombolola kwebakuba amatafaali n’okuzimba buyonjo nga kati obwanga ba bwoleseza kuzimba kitebe kya Ggombolola.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita Wamawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Israel Kazibwe Kitooke, ababaka mu lukiiko lw’eggwanga olukulu okuli Hon Christine Nakimwero Kaaya, Hon Keefa Kiwanuka, n’abakulembeze mu biti ebyenjawulo nabantu abalala bangi.









