Musasi waffe
Minisita mu gavumenti yawakati avunanyizibwa ku by’obuwangwa, n’ekikula ky’abantu Peace Mutuzo asabye abantu okukomya obutabanguko mu maka wamu n’okutulugunya abaana naddala mu kaseera kano ng’eggwanga littunka n’omuggalo olw’ekirwadde kya Coronavirus.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ku ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti erimanyiddwa nga Uganda Media Centre mu Kampala, Mutuzo agambye nit mu myezi ena gyokka, emisango gy’okutulugunya abaana egiroopeddwa giri 1967 ng’egisinga obungi giri mu disitulikiti y’e Wakiso ne Kampala.
E Waksio emisango gy’okutulugunya abaana giri 934 ng’ate e Kampala giri 578.
Emisango egiroopeddwa mu myezi ena gyokka gikola ebitundu 60 kwegyo egy’aloopebwa omwaka oguwedde.
Mu 2019, emisango 3,037 gyegyaloopebwa okwetooloola eggwanga lyonna.
“Kino tekikkirizibwa kubanga amaka mulina okubaamu ekitiibwa n’okwagalana era kikontana n’obuwangwa bwaffe. Nsaba abo bonna bekikwatako okukola ekisoboka okulaba ng’obutabanguko buno bukoma,” Mutuzo bweyagambye.
Okwogera bino abadde atageeza eggwanga ku lunaku lw’amaka olukuzibwa buli May 15 buli mwaka.
Yagambye nti gavumenti yasazeewo okukuza olunaku luno olw’okusiima amaka agasobodde okuwangaala gwonna nga tawali buzibu naddala mu kaseera kano ng’ekirwadde kya coronavirus kikyegiriisa mu ggwanga.
Wosomera bino nga mu Uganda omuwendo gw’abalina coronavirus guweze 131 oluvanyuma lwa’abantu abalala 13 okuzuulwamu obulwadde buno eggulo.